Zabbuli 130 – LCB & BPH

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 130:1-8

Zabbuli 130

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1130:1 Zab 42:7; 69:2; Kgb 3:55Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.

2130:2 a Zab 28:2 b 2By 6:40; Zab 64:1Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;

otege amatu go

eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.

3130:3 Zab 76:7; 143:2Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,

ani eyandiyimiridde mu maaso go?

4130:4 a Kuv 34:7; Is 55:7; Yer 33:8 b 1Bk 8:40Naye osonyiwa;

noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.

5130:5 a Zab 27:14; 33:20; Is 8:17 b Zab 119:81Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira

era essuubi lyange liri mu kigambo kye.

6130:6 a Zab 63:6 b Zab 119:147Emmeeme yange erindirira Mukama;

mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;

okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.

7130:7 Zab 131:3Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,

kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;

era y’alina okununula okutuukiridde.

8130:8 Luk 1:68Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya

mu byonoono bye byonna.

Bibelen på hverdagsdansk

Salmernes Bog 130:1-8

Herren er villig til at tilgive

1En valfartssang.

Herre, jeg er dybt fortvivlet.

2Hør mit råb, oh, Gud!

Lyt til min tryglende bøn!

3Hvis du holdt regnskab med alle vore synder,

hvem kunne da undslippe dommen?

4Men jeg ved, du er villig til at tilgive,

og det ansporer mig til ærefrygt.

5Jeg venter på, at du griber ind, Herre,

jeg ser frem til, at du taler til mig.

6Jeg længes mere efter at høre fra dig,

end nattevagten længes efter daggry.

7Israels folk, sæt jeres håb til Herren,

for han er trofast og barmhjertig.

Han står parat til at frelse,

8han vil redde os ud af syndens morads.