Zabbuli 13
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
113:1 Yob 13:24; Zab 44:24Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
213:2 a Zab 42:4 b Zab 42:9Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?
313:3 a Zab 5:1 b Ezr 9:8 c Yer 51:39Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
onzizeemu amaanyi nneme okufa.
413:4 Zab 25:2Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.
513:5 a Zab 52:8 b Zab 9:14Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
613:6 Zab 116:7Nnaayimbiranga Mukama,
kubanga ankoledde ebirungi.