Zabbuli 129 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 129:1-8

Zabbuli 129

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1129:1 a Zab 88:15; Kos 2:15 b Zab 124:1Isirayiri ayogere nti,

“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”

2129:2 Mat 16:18Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;

naye tebampangudde.

3Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye

era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,

4129:4 Zab 119:137kyokka Mukama mutuukirivu;

amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

5129:5 a Mi 4:11 b Zab 71:13Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe

era bazzibweyo emabega nga baswadde.

6129:6 Zab 37:2Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba129:6 Obusolya bw’ennyumba z’omu Isirayiri zaalina ettaka waggulu ku zo eryali litabuddwamu evvu n’omusenyu. Enkuba bwe yatonnyanga, mwamerangamu omuddo, kyokka omuddo ogwo gwakalanga mangu ddala olw’omusana okugwakako kubanga emirandira gyagwo tegyagendanga wala wansi mu kasolya,

oguwotoka nga tegunnakula.

7Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.

8129:8 Lus 2:4; Zab 118:26Wadde abayitawo baleme kwogera nti,

“Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.

Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

詩篇 129:1-8

第 129 篇

求上帝擊退仇敵

上聖殿朝聖之詩。

1以色列要說:

我從小就深受仇敵的迫害,

2我從小就深受仇敵的迫害,

但他們沒能勝過我。

3他們鞭打我的背,

傷痕如同農夫耕出的長長犁溝。

4耶和華是公義的,

祂砍斷了惡人捆綁我的繩索。

5願所有憎惡錫安的人狼狽而逃。

6願他們像房頂的草,

沒長起來就已枯萎,

7割下來不滿一把,

紮起來不足一捆。

8沒有一個路過的人說:

「願耶和華賜福給你們!

我們奉耶和華的名祝福你們。」