Zabbuli 128 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 128:1-6

Zabbuli 128

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1128:1 a Zab 112:1 b Zab 119:1-3Balina omukisa abatya Katonda;

era abatambulira mu makubo ge.

2128:2 a Is 3:10 b Mub 8:12Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;

oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.

3128:3 a Ez 19:10 b Zab 52:8; 144:12Mu nnyumba yo,

mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;

abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni

nga beetoolodde emmeeza yo.

4Bw’atyo bw’aweebwa emikisa

omuntu atya Mukama.

5128:5 Zab 20:2; 134:3Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,

era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi

ennaku zonna ez’obulamu bwo.

6128:6 a Lub 50:23; Yob 42:16 b Zab 125:5Owangaale olabe abaana b’abaana bo!

Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Korean Living Bible

시편 128:1-6

여호와를 섬기는 자의 복

(성전에 올라가는 노래)

1여호와를 두려운

마음으로 섬기며

그의 명령대로 사는 자는

복이 있다.

2네가 수고한 대가를

충분히 받을 것이니

네가 행복하고 번영하리라.

3네 집 안에 있는

너의 아내는

결실한 포도나무 같으며

네 식탁에 둘러앉은

너의 자녀들은

어린 감람나무 같으리라.

4여호와를 두려운

마음으로 섬기는 자는

이와 같이 복을 받으리라.

5여호와께서 시온에서

너를 축복하시기 원하노라.

네가 128:5 원문에는 ‘성문에서’평생에

예루살렘이 번영하는 것을 보며

6너의 손자 손녀를 볼 때까지

네가 살기 원하노라.

여호와여, 이스라엘에

평화를 주소서.