Zabbuli 127 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 127:1-5

Zabbuli 127

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.

1127:1 a Zab 78:69 b Zab 121:4Mukama bw’atazimba nnyumba,

abo abagizimba bazimbira bwereere.

Mukama bw’atakuuma kibuga,

abakuumi bateganira bwereere.

2127:2 a Lub 3:17 b Yob 11:18Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,

ate n’olwawo n’okwebaka

ng’okolerera ekyokulya;

kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.

3127:3 Lub 33:5Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;

era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.

4Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,

n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.

5127:5 Nge 27:11Alina omukisa omuntu oyo

ajjuzza ensawo ye n’obusaale,

kubanga tebaliswazibwa;

balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

New Russian Translation

Псалтирь 127:1-6

Псалом 127

1Песнь восхождения.

Блажен всякий, боящийся Господа

и ходящий Его путями.

2Ты будешь есть плоды труда своих рук;

блажен ты и процветание будет у тебя.

3Жена твоя будет как плодовитая лоза

в твоем доме,

твои дети будут как ветви олив

вокруг твоего стола.

4Так будет благословлен человек,

боящийся Господа.

5Да благословит тебя Господь с Сиона,

да увидишь ты процветание Иерусалима

во все дни своей жизни

6и да увидишь детей у детей своих.

Мир Израилю!