Zabbuli 125 – LCB & TNCV

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 125:1-5

Zabbuli 125

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1125:1 Zab 46:5Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni

olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.

2125:2 Zab 121:8; Zek 2:4-5Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,

ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,

okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.

3125:3 a Zab 89:22; Nge 22:8; Is 14:5 b 1Sa 24:10; Zab 55:20Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira

mu nsi y’abatuukirivu,

baleme okuwaliriza abatuukirivu

okukola ebibi.

4125:4 a Zab 119:68 b Zab 7:10; 36:10; 94:15Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu

bakolere ebirungi.

5125:5 a Yob 23:11 b Nge 2:15; Is 59:8 c Zab 128:6Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,

Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.

Emirembe gibe ku Isirayiri.

Thai New Contemporary Bible

สดุดี 125:1-5

สดุดี 125

(บทเพลงใช้แห่ขึ้นไปยังเยรูซาเล็ม)

1บรรดาผู้ที่วางใจในองค์พระผู้เป็นเจ้าก็เป็นเช่นภูเขาศิโยน

ซึ่งไม่หวั่นไหว แต่ตั้งมั่นตลอดกาล

2ดั่งภูเขาทั้งหลายรายล้อมเยรูซาเล็ม

องค์พระผู้เป็นเจ้าก็ทรงโอบล้อมประชากรของพระองค์

ทั้งบัดนี้และสืบไปนิรันดร์

3คทาของคนชั่วจะไม่คงอยู่

เหนือแผ่นดินซึ่งเป็นส่วนของคนชอบธรรม

มิฉะนั้นคนชอบธรรม

จะลงมือทำผิด

4ข้าแต่องค์พระผู้เป็นเจ้า ขอทรงดีต่อผู้ที่ทำดี

ต่อผู้ที่มีจิตใจเที่ยงธรรม

5แต่ผู้ที่หันไปสู่ทางคดเคี้ยว

องค์พระผู้เป็นเจ้าจะทรงเนรเทศเขาไปพร้อมกับคนทำชั่ว

สันติสุขจงมีแก่อิสราเอล