Zabbuli 124
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
1124:1 Zab 129:1Isirayiri agamba nti,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
2singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
abalabe baffe bwe baatulumba,
3banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
4Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
ne mukoka n’atukulukutirako;
5amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
ganditukuluggusizza.
6Mukama atenderezebwe
atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
7124:7 Zab 91:3; Nge 6:5Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
naffe tuwonye!
8124:8 Lub 1:1; Zab 121:2; 134:3Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.