Zabbuli 121
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
2121:2 Zab 115:15; 124:8Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
3Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
4Laba, oyo akuuma Isirayiri
taabongootenga so teyeebakenga.
5121:5 Is 25:4Mukama ye mukuumi wo;
Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
6121:6 Zab 91:5; Is 49:10; Kub 7:16emisana enjuba teekwokyenga,
wadde omwezi ekiro.
7121:7 Zab 41:2; 91:10-12Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
anaalabiriranga obulamu bwo.
8121:8 Ma 28:6Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.