Zabbuli 117 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 117:1-2

Zabbuli 117

1117:1 Bar 15:11*Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;

mumugulumize, mmwe amawanga gonna.

2117:2 Zab 100:5Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;

n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.

Mutendereze Mukama.