Zabbuli 115 – LCB & NIRV

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 115:1-18

Zabbuli 115

1115:1 Zab 96:8; Is 48:11; Ez 36:32Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.

Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,

olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.

2115:2 Zab 42:3; 79:10Lwaki amawanga gabuuza nti,

“Katonda waabwe ali ludda wa?”

3115:3 a Zab 103:19 b Zab 135:6; Dan 4:35Katonda waffe ali mu ggulu;

akola buli ky’ayagala.

4115:4 Ma 4:28; Yer 10:3-5Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,

ebikolebwa n’emikono gy’abantu.

5115:5 Yer 10:5Birina emimwa, naye tebyogera;

birina amaaso, naye tebiraba.

6Birina amatu, naye tebiwulira;

birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.

7Birina engalo, naye tebikwata;

birina ebigere, naye tebitambula;

ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,

8abakozi ababikola,

n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.

9Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,

ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.

10115:10 Zab 118:3Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,

ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.

11Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,

ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.

12Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.

Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;

ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;

13115:13 Zab 128:1, 4n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,

Mukama anaabawanga omukisa.

14115:14 Ma 1:11Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,

mmwe n’abaana bammwe.

15115:15 Lub 1:1; 14:19; Zab 96:5Mukama, eyakola eggulu n’ensi,

abawe omukisa.

16115:16 a Zab 89:11 b Zab 8:6-8Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,

naye ensi yagiwa abantu bonna.

17115:17 Zab 6:5; 88:10-12; Is 38:18Abafu tebatendereza Mukama,

wadde abo abaserengeta emagombe.

18115:18 Zab 113:2; Dan 2:20Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,

okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Mutendereze Mukama!

New International Reader’s Version

Psalm 115:1-18

Psalm 115

1Lord, may glory be given to you, not to us.

You are loving and faithful.

2Why do the nations ask,

“Where is their God?”

3Our God is in heaven.

He does anything he wants to do.

4But the statues of their gods are made out of silver and gold.

They are made by human hands.

5They have mouths but can’t speak.

They have eyes but can’t see.

6They have ears but can’t hear.

They have noses but can’t smell.

7They have hands but can’t feel.

They have feet but can’t walk.

They have throats but can’t say anything.

8Those who make statues of gods will be like them.

So will all those who trust in them.

9All you Israelites, trust in the Lord.

He helps you like a shield that keeps you safe.

10Priests of Aaron, trust in the Lord.

He helps you like a shield that keeps you safe.

11You who have respect for the Lord, trust in him.

He helps you like a shield that keeps you safe.

12The Lord remembers us and will bless us.

He will bless Israel, his people.

He will bless the priests of Aaron.

13The Lord will bless those who have respect for him.

He will bless important and unimportant people alike.

14May the Lord give you many children.

May he give them to you and to your children after you.

15May the Lord bless you.

He is the Maker of heaven and earth.

16The highest heavens belong to the Lord.

But he has given the earth to human beings.

17Dead people don’t praise the Lord.

Those who lie quietly in the grave don’t praise him.

18But we who are alive praise the Lord,

both now and forever.

Praise the Lord.