Zabbuli 113 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 113:1-9

Zabbuli 113

1113:1 Zab 135:1Mutendereze Mukama!

Mumutendereze, mmwe abaweereza be,

mutendereze erinnya lya Mukama.

2113:2 Dan 2:20Erinnya lya Mukama litenderezebwe

okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

3113:3 Is 59:19; Mal 1:11Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,

erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

4113:4 a Zab 99:2 b Zab 8:1; 97:9Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,

era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.

5113:5 a Zab 89:6 b Zab 103:19Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,

atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,

6113:6 Zab 11:4; 138:6; Is 57:15ne yeetoowaza

okutunuulira eggulu n’ensi?

7113:7 a 1Sa 2:8 b Zab 107:41Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;

n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,

8113:8 Yob 36:7n’abatuuza wamu n’abalangira,

awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.

9113:9 1Sa 2:5; Zab 68:6; Is 54:1Omukazi omugumba amuwa abaana,

n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.

Mutendereze Mukama!