Zabbuli 112
1112:1 a Zab 128:1 b Zab 119:14, 16, 47, 92Mutendereze Mukama!112:1 Mu Lwebbulaniya Aleruuya
Alina omukisa omuntu atya Katonda,
era asanyukira ennyo mu mateeka ge.
2Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
3Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
4112:4 a Yob 11:17 b Zab 97:11Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
5112:5 Zab 37:21, 26Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
6112:6 Nge 10:7Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
era anajjukirwanga ennaku zonna.
7112:7 Zab 57:7; Nge 1:33Amawulire amabi tegaamutiisenga,
kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
8112:8 Zab 59:10Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
9112:9 a 2Ko 9:9* b Zab 75:10Agabidde abaavu bye beetaaga;
mutuukirivu ebbanga lyonna;
era bonna banaamussangamu ekitiibwa.
10112:10 a Zab 86:17 b Zab 37:12 c Zab 58:7-8 d Nge 11:7Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.