Zabbuli 111 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 111:1-10

Zabbuli 111

1Mutendereze Mukama!

Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,

mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.

2111:2 Zab 92:5; 143:5Mukama by’akola bikulu;

bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.

3Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,

n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.

4111:4 Zab 103:8Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,

Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.

5111:5 Mat 6:26, 31-33Agabira abamutya emmere;

era ajjukira endagaano ye buli kiseera.

6Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;

n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.

7111:7 Zab 19:7; Kub 15:3By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;

n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,

8111:8 Is 40:8; Mat 5:18manywevu emirembe gyonna;

era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.

9111:9 a Luk 1:68 b Zab 99:3; Luk 1:49Yanunula abantu be;

n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.

Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!

10111:10 a Nge 9:10 b Mub 12:13 c Zab 145:2Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera

era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.

Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.