Zabbuli 110 – LCB & NSP

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 110:1-7

Zabbuli 110

Zabbuli ya Dawudi.

1110:1 a Mat 22:44*; Mak 12:36*; Luk 20:42*; Bik 2:34* b 1Ko 15:25Mukama yagamba Mukama wange nti:

“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,

okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo

ne mbassa wansi w’ebigere byo.110:1 Entebe ez’obwakabaka ez’edda, zaateekebwanga waggulu, kabaka ng’alina kulinnya maddaala okutuulako. Bakabaka abaawangulanga abalabe baabwe, babafufugazanga ne babassa wansi w’ebigere byabwe.

2110:2 Zab 45:6Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;

olifuga abalabe bo.

3110:3 Bal 5:2; Zab 96:9Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo

ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.

Abavubuka bo,

nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,

balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.

4110:4 a Kbl 23:19 b Beb 5:6*; 7:21* c Beb 7:15-17*Mukama yalayira,

era tagenda kukijjulula,

yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna

ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”

5110:5 a Zab 16:8 b Zab 2:12 c Zab 2:5; Bar 2:5Mukama anaakulwaniriranga;

bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.

6110:6 a Is 2:4 b Is 66:24 c Zab 68:21Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,

n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.

7110:7 Zab 27:6Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,

n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.

New Serbian Translation

Псалми 110:1-7

Псалам 110

Псалам Давидов.

1Рече Господ Господу моме:

„Седи мени с моје десне стране,

док душмане не положим твоје,

за твоје ноге постоље да буду.

2Жезло снаге твоје пружа Господ са Сиона:

Сред душмана својих владај!

3Твој ће ти се народ радо дати у дану твог похода;

у сјају славе, у цику зоре младићи су твоји као роса.“

4Господ је дао заклетву

и неће је повући:

„Ти си довека свештеник

по реду Мелхиседековом.

5Господ ти је с десне стране

и цареве ломи у дану свог гнева.

6Он народима суди, све је пуно лешева;

широм поља он главе разбија.

7Он из потока крај пута пије

и због тога диже главу.“