Zabbuli 11 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 11:1-7

Zabbuli 11

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

111:1 Zab 56:11Mu Mukama mwe neekweka;

ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,

“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?

211:2 a Zab 7:13 b Zab 64:3-4Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe

egy’obusaale,

balase abalina omutima

omulongoofu.

311:3 Zab 82:5Emisingi nga gizikirizibwa,

omutuukirivu ayinza kukola ki?”

411:4 a Zab 18:6 b Zab 103:19 c Zab 33:13 d Zab 34:15-16Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;

Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.

Amaaso ge gatunuulira

era geetegereza abaana b’abantu.

511:5 a Lub 22:1; Yak 1:12 b Zab 5:5Mukama akebera abatuukirivu

naye omutima gwe gukyawa ababi,

n’abakola eby’obukambwe.

611:6 a Ez 38:22 b Yer 4:11-12Ababi alibayiwako

amanda ag’omuliro;

n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.

711:7 a Zab 7:9, 11; 45:7 b Zab 33:5 c Zab 17:15Kubanga Mukama mutuukirivu

era ayagala eby’obutuukirivu;

abo abalongoofu be balimulaba.