Zabbuli 107 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 107:1-43

EKITABO V

Zabbuli 107–150

Zabbuli 107

1107:1 Zab 106:1Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;

okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

2107:2 Zab 106:10Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;

abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;

3107:3 Zab 106:47; Is 43:5-6abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,

n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

4107:4 Kbl 14:33; 32:13Abamu baataataaganira mu malungu

nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.

5Baalumwa ennyonta n’enjala,

obulamu bwabwe ne butandika okusereba.

6107:6 Zab 50:15Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi;

n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.

7107:7 Ezr 8:21Yabakulembera butereevu

n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.

8Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,

n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!

9107:9 a Zab 22:26; Luk 1:53 b Zab 34:10Kubanga abalina ennyonta abanywesa,

n’abayala abakkusa ebirungi.

10107:10 a Luk 1:79 b Yob 36:8Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;

abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi;

11107:11 a Zab 106:7; Kgb 3:42 b 2By 36:16kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda,

ne banyoomoola amagezi g’oyo Ali Waggulu Ennyo.

12107:12 Zab 22:11Baakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike;

baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.

13Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe,

era n’abawonya;

14107:14 Zab 116:16; Luk 13:16; Bik 12:7n’abaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;

n’enjegere ezaali zibasibye n’azikutula.

15Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,

n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!

16Kubanga enzigi ez’ebikomo azaasaayasa,

n’emitayimbwa egy’ekyuma agimenyamu.

17107:17 Is 65:6-7; Kgb 3:39Abamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe;

ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi.

18107:18 a Yob 33:20 b Yob 33:22; Zab 9:13; 88:3Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.

19Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo,

n’abawonya.

20107:20 a Mat 8:8 b Zab 103:3 c Yob 33:28 d Zab 30:3; 49:15Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe;

n’abalokola mu kuzikirira.

21Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,

n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!

22107:22 a Lv 7:12; Zab 50:14; 116:17 b Zab 9:11; 73:28; 118:17Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza,

era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.

23Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja;

baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.

24Baalaba Mukama bye yakola,

ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.

25107:25 a Zab 105:31 b Yon 1:4 c Zab 93:3Kubanga yalagira omuyaga

ne gusitula amayengo waggulu.

26107:26 Zab 22:14Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi;

akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.

27Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala;

n’amagezi ne gabaggwaako.

28Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu;

n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.

29107:29 a Mat 8:26 b Zab 89:9Omuyaga yagusirisa,

ennyanja n’etteeka.

30Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;

n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.

31Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,

n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!

32107:32 Zab 22:22, 25; 35:18Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye,

era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.

33107:33 1Bk 17:1; Zab 74:15Afuula emigga amalungu,

n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,

34107:34 Lub 13:10; 14:3; 19:25ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo

olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.

35107:35 Zab 114:8; Is 41:18Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi,

n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,

36abalina enjala n’abateeka omwo,

ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu,

37107:37 Is 65:21ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu,

ne bakungula ebibala bingi.

38107:38 Lub 12:2; 17:16, 20; Kuv 1:7Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi;

n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.

39107:39 2Bk 10:32; Ez 5:12Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa

olw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku;

40107:40 a Yob 12:21 b Yob 12:24oyo anyooma n’abakungu,

n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.

41107:41 1Sa 2:8; Zab 113:7-9Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona,

n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo.

42107:42 a Yob 22:19 b Yob 5:16; Zab 63:11; Bar 3:19Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka;

naye abakola ebibi bo basirika busirisi.

43107:43 a Yer 9:12; Kos 14:9 b Zab 64:9Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino

era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.