Zabbuli 106 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 106:1-48

Zabbuli 106

1106:1 Zab 100:5; 105:1Mumutendereze Mukama!

Mwebaze Mukama kubanga mulungi,

kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.

2106:2 Zab 145:4, 12Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,

oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?

3106:3 Zab 15:2Balina omukisa abalina obwenkanya,

era abakola ebituufu bulijjo.

4106:4 Zab 119:132Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;

nange onnyambe bw’olibalokola,

5106:5 a Zab 1:3 b Zab 118:15ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,

nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,

era ntendererezenga mu bantu bo.

6106:6 Dan 9:5Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;

tukoze ebibi ne tusobya nnyo.

7106:7 a Zab 78:11, 42 b Kuv 14:11-12Bakadde baffe

tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;

n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,

bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.

8106:8 Kuv 9:16Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,

alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.

9106:9 a Zab 18:15 b Kuv 14:21; Nak 1:4 c Is 63:11-14Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;

n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.

10106:10 a Kuv 14:30 b Zab 107:2Yabawonya abalabe baabwe;

n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.

11106:11 Kuv 14:28; 15:5Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;

ne wataba n’omu awona.

12106:12 Kuv 15:1-21Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;

ne bayimba nga bamutendereza.

13106:13 Kuv 15:24Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;

ne batawulirizanga kubuulirira kwe.

14106:14 1Ko 10:9Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;

ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.

15106:15 a Kbl 11:31 b Is 10:16Bw’atyo n’abawa kye baasaba,

kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.

16106:16 Kbl 16:1-3Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa

ne Alooni abalonde ba Mukama.

17106:17 Ma 11:6Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;

Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.

18106:18 Kbl 16:35Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;

ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.

19106:19 Kuv 32:4Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;

ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.

20106:20 Yer 2:11; Bar 1:23Ekitiibwa kya Katonda

ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.

21106:21 a Zab 78:11 b Ma 10:21Ne beerabira Katonda eyabanunula,

eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,

22106:22 Zab 105:27ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,

n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.

23106:23 a Kuv 32:10 b Kuv 32:11-14N’agamba nti,

Ajja kubazikiriza.

Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge

n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.

24106:24 a Ma 8:7; Ez 20:6 b Beb 3:18-19Baanyooma eby’ensi ennungi,

kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.

25106:25 Kbl 14:2Beemulugunyiriza mu weema zaabwe,

ne batagondera ddoboozi lya Mukama.

26106:26 a Ez 20:15; Beb 3:11 b Kbl 14:28-35Kyeyava yeerayirira

nti alibazikiririza mu ddungu,

27106:27 Lv 26:33; Zab 44:11era nga n’abaana baabwe

balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.

28106:28 Kbl 25:2-3; Kos 9:10Baatandika okusinza Baali e Peoli;

ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.

29Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;

kawumpuli kyeyava abagwamu.

30106:30 Kbl 25:8Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,

kawumpuli n’agenda.

31106:31 Kbl 25:11-13Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu

emirembe gyonna.

32106:32 Kbl 20:2-13; Zab 81:7Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,

ne baleetera Musa emitawaana;

33106:33 Kbl 20:8-12kubanga baajeemera ebiragiro bye,

ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.

34106:34 a Bal 1:21 b Ma 7:16Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza

nga Mukama bwe yali abalagidde,

35106:35 Bal 3:5-6naye beetabika n’abannaggwanga ago

ne bayiga empisa zaabwe.

36106:36 Bal 2:12Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago

ne bibafuukira omutego.

37106:37 2Bk 16:3; 17:17Baawaayo batabani baabwe

ne bawala baabwe eri bakatonda abo.

38106:38 Kbl 35:33Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe

abataliiko musango,

be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,

ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.

39106:39 a Ez 20:18 b Lv 17:7; Kbl 15:39Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,

ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

40106:40 a Bal 2:14; Zab 78:59 b Ma 9:29Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,

n’akyawa ezzadde lye.

41106:41 Bal 2:14; Nek 9:27N’abawaayo eri amawanga amalala,

abalabe ne babafuga.

42Abalabe baabwe ne babanyigiriza,

ne babatuntuza nnyo ddala.

43106:43 Bal 2:16-19Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,

naye obujeemu ne bubalemeramu,

ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.

44106:44 Bal 3:9; 10:10Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,

n’abakwatirwa ekisa;

45106:45 a Lv 26:42; Zab 105:8 b Bal 2:18ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;

okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.

46106:46 Ezr 9:9; Yer 42:12N’abaleetera okusaasirwa

abo abaabawambanga.

47106:47 Zab 147:2Ayi Mukama Katonda,

otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,

tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,

era tusanyukenga nga tukutendereza.

48106:48 Zab 41:13Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,

emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”

Mumutendereze Mukama.