Zabbuli 105 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 105:1-45

Zabbuli 105

1105:1 a 1By 16:34 b Zab 99:6Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;

amawanga gonna mugategeeze by’akoze.

2105:2 Zab 96:1Mumuyimbire, mumutendereze;

muyimbe ku byamagero bye.

3Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;

emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.

4105:4 Zab 27:8Munoonye Mukama n’amaanyi ge;

mumunoonyenga ennaku zonna.

5105:5 a Zab 40:5 b Zab 77:11Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,

ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;

6105:6 a nny 42 b Zab 106:5mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be

mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.

7Ye Mukama Katonda waffe;

ye alamula mu nsi yonna.

8105:8 Zab 106:45; Luk 1:72Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,

kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,

9105:9 Lub 12:7; 17:2; 22:16-18; Bag 3:15-18ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,

era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.

10105:10 Lub 28:13-15Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,

n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,

11105:11 Lub 13:15; 15:18“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani

okuba omugabo gwo.”

12105:12 a Lub 34:30; Ma 7:7 b Lub 23:4; Beb 11:9Bwe baali bakyali batono,

nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,

13baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,

ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.

14105:14 a Lub 35:5 b Lub 12:17-20Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;

n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,

15105:15 Lub 26:11“Abalonde bange,

ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”

16105:16 Lub 41:54; Lv 26:26; Is 3:1; Ez 4:16Yaleeta enjala mu nsi,

emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.

17105:17 Lub 37:28; 45:5; Bik 7:9N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,

ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,

18105:18 Lub 40:15ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,

obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,

19105:19 Lub 40:20-22okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,

okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.

20105:20 Lub 41:14Kabaka n’atuma ne bamusumulula;

omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.

21Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,

n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;

22105:22 Lub 41:43-44okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,

n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.

23105:23 Lub 46:6; Bik 13:17Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;

Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.

24105:24 Kuv 1:7, 9Mukama n’ayaza nnyo abantu be;

ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,

25105:25 a Kuv 4:21 b Kuv 1:6-10; Bik 7:19n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,

ne basalira abaweereza be enkwe.

26105:26 a Kuv 3:10 b Kbl 16:5; 17:5-8Yatuma abaweereza be Musa

ne Alooni, be yalonda.

27105:27 Kuv 7:8–12:51Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;

ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.

28105:28 Kuv 10:22Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,

kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.

29105:29 a Zab 78:44 b Kuv 7:21Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,

ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.

30105:30 Kuv 8:2, 6Ensi yaabwe yajjula ebikere,

ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.

31105:31 a Kuv 8:21-24 b Kuv 8:16-18Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,

n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.

32105:32 Kuv 9:22-25Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;

eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.

33105:33 Zab 78:47Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,

n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.

34105:34 Kuv 10:4, 12-15Yalagira, enzige ne zijja

ne bulusejjera obutabalika muwendo.

35Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,

na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.

36105:36 Kuv 12:29N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,

nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.

37105:37 Kuv 12:35Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;

era bonna baali ba maanyi.

38105:38 Kuv 12:33; 15:16Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,

kubanga baali batandise okubatiira ddala.

39105:39 a Kuv 13:21 b Nek 9:12; Zab 78:14Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,

n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.

40105:40 a Zab 78:18, 24 b Kuv 16:13 c Yk 6:31Baamusaba, n’abaweereza enkwale

era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.

41105:41 Kuv 17:6; Kbl 20:11; Zab 78:15-16; 1Ko 10:4Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,

ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.

42105:42 Lub 15:13-16Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu

kye yawa omuweereza we Ibulayimu.

43105:43 Kuv 15:1-18; Zab 106:12Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,

abalonde be nga bayimba olw’essanyu.

44105:44 Yos 13:6-7Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,

ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;

45105:45 Ma 4:40; 6:21-24balyoke bakwatenga amateeka ge,

era bagonderenga ebiragiro bye.

Mumutendereze Mukama.