Zabbuli 104 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 104:1-35

Zabbuli 104

1104:1 Zab 103:22Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;

ojjudde obukulu n’ekitiibwa.

2104:2 a Dan 7:9 b Is 40:22Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo

n’abamba eggulu ng’eweema,

3104:3 a Am 9:6 b Is 19:1 c Zab 18:10n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;

ebire abifuula amagaali ge,

ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.

4104:4 a Zab 148:8; Beb 1:7* b 2Bk 2:11Afuula empewo ababaka be,

n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.

5104:5 Yob 26:7; Zab 24:1-2Yassaawo ensi ku misingi gyayo;

teyinza kunyeenyezebwa.

6104:6 a Lub 7:19 b Lub 1:2Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;

amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.

7104:7 Zab 18:15Bwe wagaboggolera ne gadduka;

bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;

8104:8 Zab 33:7gaakulukutira ku nsozi ennene,

ne gakkirira wansi mu biwonvu

mu bifo bye wagategekera.

9Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,

na kuddayo kubuutikira nsi.

10104:10 Zab 107:33; Is 41:18Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;

ne gakulukutira wakati w’ensozi.

11Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;

n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.

12104:12 Mat 8:20Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,

ne biyimbira mu matabi.

13104:13 Zab 147:8; Yer 10:13Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;

ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.

14104:14 a Yob 38:27; Zab 147:8 b Lub 1:30; Yob 28:5Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,

n’ebirime abantu bye balima,

balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.

15104:15 a Bal 9:13 b Zab 23:5; 92:10; Luk 7:46Ne wayini okusanyusa omutima gwe,

n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,

n’emmere okumuwa obulamu.

16Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;

gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.

17104:17 nny 12Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;

ne ssekanyolya asula mu miti omwo.

18104:18 Nge 30:26Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;

n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.

19104:19 a Lub 1:14 b Zab 19:6Wakola omwezi okutegeeza ebiro;

n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.

20104:20 a Is 45:7 b Zab 74:16 c Zab 50:10Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;

olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.

21104:21 Yob 38:39; Zab 145:15; Yo 1:20Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;

nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.

22104:22 Yob 37:8Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma

ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.

23104:23 Lub 3:19Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,

ne bakola okutuusa akawungeezi.

24104:24 a Zab 40:5 b Nge 3:19Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!

Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;

ensi ejjudde ebitonde byo.

25104:25 Zab 69:34Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,

ejjudde ebitonde ebitabalika,

ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.

26104:26 a Zab 107:23; Ez 27:9 b Yob 41:1Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;

ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.

27104:27 Yob 36:31; Zab 136:25; 145:15; 147:9Ebyo byonna bitunuulira ggwe

okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.

28104:28 Zab 145:16Bw’ogibiwa,

nga bigikuŋŋaanya;

bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi

ne bikkusibwa.

29104:29 a Ma 31:17 b Yob 34:14; Mub 12:7Bw’okweka amaaso go

ne byeraliikirira nnyo;

bw’obiggyamu omukka nga bifa,

nga biddayo mu nfuufu.

30Bw’oweereza Omwoyo wo,

ne bifuna obulamu obuggya;

olwo ensi n’ogizza buggya.

31104:31 Lub 1:31Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;

era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.

32104:32 a Zab 97:4 b Kuv 19:18 c Zab 144:5Atunuulira ensi, n’ekankana;

bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.

33104:33 Zab 63:4Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;

nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.

34104:34 Zab 9:2Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;

kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.

35104:35 a Zab 37:38 b Zab 105:45; 106:48Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;

aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.