Zabbuli 103 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 103:1-22

Zabbuli 103

Zabbuli Ya Dawudi.

1103:1 Zab 104:1Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;

ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.

2Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,

era teweerabiranga birungi bye byonna.

3103:3 a Zab 130:8 b Kuv 15:26Asonyiwa ebibi byo byonna,

n’awonya n’endwadde zo zonna.

4Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira

era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.

5103:5 Is 40:31Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;

obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.103:5 Empungu emanyiddwa olw’amaanyi gaayo n’olw’obuwangaazi bwayo.

6Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,

ensonga z’abo bonna abajoogebwa.

7103:7 a Zab 99:7; 147:19 b Kuv 33:13 c Zab 106:22Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,

n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.

8103:8 Kuv 34:6; Zab 86:15; Yak 5:11Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,

tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.

9103:9 Zab 30:5; Is 57:16; Yer 3:5, 12; Mi 7:18Taasibenga busungu ku mwoyo,

era tasunguwala kumala bbanga lyonna.

10103:10 Ezr 9:13Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,

wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.

11103:11 Zab 57:10Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,

n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.

12103:12 2Sa 12:13Ebibi byaffe abituggyako

n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.

13103:13 Mal 3:17Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,

ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.

14103:14 Is 29:16Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa

era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.

15103:15 a Zab 90:5 b Yob 14:2; Yak 1:10; 1Pe 1:24Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo;

akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;

16103:16 a Is 40:7 b Yob 7:10empewo ekifuuwa, ne kifa;

nga ne we kyali tewakyajjukirwa.

17Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo

emirembe gyonna,

n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.

18103:18 Ma 7:9Be bo abakuuma endagaano ye

ne bajjukira okugondera amateeka ge.

19103:19 Zab 47:2Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu,

n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.

20103:20 a Zab 148:2; Beb 1:14 b Zab 29:1Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be,

mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba,

era abagondera ekigambo kye.

21103:21 1Bk 22:19Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,

mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.

22103:22 Zab 145:10Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna

ebiri mu matwale ge gonna.

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.