Zabbuli 102 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 102:1-28

Zabbuli 102

Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama.

1102:1 Kuv 2:23Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,

okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.

2102:2 Zab 69:17Tonneekweka

mu biseera eby’obuyinike bwange.

Ntegera okutu kwo

onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!

3102:3 Yak 4:14Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka,

n’amagumba gange gaaka ng’amanda.

4102:4 Zab 37:2Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose;

neerabira n’okulya emmere yange.

5Olw’okwaziirana kwange okunene,

nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.

6102:6 Yob 30:29; Is 34:11Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu,

era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.

7102:7 a Zab 77:4 b Zab 38:11Nsula ntunula,

nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.

8Abalabe bange banvuma olunaku lwonna;

abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.

9102:9 Zab 42:3Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,

n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.

10102:10 Zab 38:3Olw’obusungu n’okunyiiga kwo;

onneegobyeko n’onsuula eyo.

11102:11 Yob 14:2Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba;

mpotoka ng’omuddo.

12102:12 a Zab 9:7 b Zab 135:13Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;

erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.

13102:13 Is 60:10Olisituka n’osaasira Sayuuni,

kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;

ekiseera kye wateekateeka kituuse.

14Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,

n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.

15102:15 a 1Bk 8:43 b Zab 138:4Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;

ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.

16102:16 Is 60:1-2Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,

era n’alabika mu kitiibwa kye.

17102:17 Nek 1:6Alyanukula okusaba kw’abanaku;

talinyooma kwegayirira kwabwe.

18102:18 a Bar 15:4 b Zab 22:31Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja,

abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.

19102:19 Ma 26:15Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu;

Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,

20102:20 Zab 79:11okuwulira okusinda kw’abasibe,

n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.

21102:21 Zab 22:22Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni,

bamutenderezenga mu Yerusaalemi;

22abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka,

okusinza Mukama.

23Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka;

akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.

24102:24 Zab 90:2; Is 38:10Ne ndyoka mmukaabira nti,

“Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,

ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.

25102:25 Lub 1:1; Beb 1:10-12*Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;

n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.

26102:26 Is 34:4; Mat 24:35; 2Pe 3:7-10; Kub 20:11Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.

Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.

Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.

27102:27 Mal 3:6; Beb 13:8; Yak 1:17Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera

n’emyaka gyo tegirikoma.

28102:28 a Zab 69:36 b Zab 89:4Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe;

ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”