Zabbuli 101 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 101:1-8

Zabbuli 101

Zabbuli ya Dawudi.

1101:1 Zab 51:14; 89:1; 145:7Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;

nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.

2Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,

naye olijja ddi gye ndi?

Nnaabeeranga mu nnyumba yange

nga siriiko kya kunenyezebwa.

3101:3 a Ma 15:9 b Zab 40:4Sijjanga kwereetereza kintu

kyonna ekibi.

Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;

sijjanga kubyeteekako.

4101:4 Nge 11:20Sijjanga kuba mukuusa;

ekibi nnaakyewaliranga ddala.

5101:5 a Zab 50:20 b Zab 10:5; Nge 6:17Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,

nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala

sijja kubigumiikirizanga.

6101:6 Zab 119:1Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,

balyoke babeerenga nange;

akola eby’obutuukirivu

y’anamperezanga.

7Atayogera mazima

taabeerenga mu nnyumba yange.

Omuntu alimba

sirimuganya kwongera kubeera nange.

8101:8 a Yer 21:12 b Zab 75:10 c Zab 118:10-12 d Zab 46:4Buli nkya nnaazikirizanga

abakola ebibi bonna mu nsi,

bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala

mu kibuga kya Mukama.