Zabbuli 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 1:1-6

EKITABO I

Zabbuli 1–41

Zabbuli 1

11:1 a Nge 4:14 b Zab 26:4; Yer 15:17Alina omukisa omuntu

atatambulira mu kuteesa kw’ababi,

era atayimirira mu kibiina ky’ababi,

newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.

21:2 a Zab 119:16, 35 b Zab 119:1 c Yos 1:8Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,

era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.

31:3 a Zab 128:3 b Yer 17:8 c Ez 47:12 d Lub 39:3Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,

ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,

n’ebikoola byagwo tebiwotoka.

Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.

41:4 Yob 21:18; Is 17:13Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.

Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.

51:5 a Zab 5:5 b Zab 9:7-8, 16Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;

newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.

61:6 a Zab 37:18; 2Ti 2:19 b Zab 9:6Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,

naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.