Yoweeri 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yoweeri 1:1-20

11:1 a Yer 1:2 b Bik 2:16Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.

21:2 a Kos 5:1 b Kos 4:1 c Yo 2:2Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri,

buli ali mu nsi naye awulirize.

Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe,

oba mu biseera bya bakitammwe?

31:3 Kuv 10:2; Zab 78:4Mukibuulire abaana bammwe,

nabo balikibuulira abaana baabwe,

nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.

41:4 Ma 28:39; Nak 3:15Ebibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde,

enzige eziddirira zibirumbye,

ate ezo bye zireseewo,

enzige ento bye ziridde,

ate zino bye zireseewo,

enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!

51:5 Yo 3:3Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga;

mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge,

mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe

katuuse okwerabira omwenge omusu.

61:6 a Yo 2:2, 11, 25 b Kub 9:8Eggwanga lirumbye ensi yange,

ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika.

Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma,

n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.

71:7 a Is 5:6 b Am 4:9Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange,

ne limalawo emitiini gyange.

Lisusumbudde ebikuta byagyo,

byonna biri ku ttaka,

amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.

81:8 nny 13; Is 22:12; Am 8:10Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba,

ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.

91:9 Kos 9:4; Yo 2:14, 17Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa

tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama.

Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda

bakungubaga.

101:10 a Is 24:4 b Kos 9:2Ennimiro ziweddemu ebirime;

ettaka likaze,

Emmere ey’empeke eweddewo,

omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.

111:11 a Yer 14:3-4; Am 5:16 b Is 17:11Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa,

mmwe abalima emizabbibu mukaabe.

Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,

kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.

121:12 Kag 2:19Omuzabbibu gukaze

n’omutiini guyongobedde.

Omukomamawanga, n’olukindu ne apo

n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.

Abantu tebakyalina ssanyu.

Abantu bayitibwa Okwenenya

131:13 a Yer 4:8 b Yo 2:17 c nny 9Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage.

Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto,

mweyale wansi awali ekyoto,

musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe,

kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna,

eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.

141:14 a 2By 20:3 b Yon 3:8Mulangirire okusiiba okutukuvu

n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda.

Muyite abakulu abakulembeze

n’abantu bonna ababeera mu nsi,

bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe

bamukaabirire.

151:15 a Yer 30:7 b Is 13:6, 9; Yo 2:1, 11, 31Zitusanze olw’olunaku luli!

Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde.

Lulijja, ng’okuzikiriza

okuva eri Ayinzabyonna.

161:16 a Is 3:7 b Ma 12:7Emmere tetuweddeeko

nga tulaba?

Essanyu n’okujaguza

mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?

171:17 Is 17:10-11Ensigo ziwotokedde

mu ttaka,

amawanika makalu

n’ebyagi by’emmere bikaze,

kubanga emmere ey’empeke eweddewo.

18Ensolo nga zisinda!

Amagana gabuliddwa amagezi;

kubanga tewali muddo,

n’endiga nazo zidooba.

191:19 a Zab 50:15 b Am 7:4 c Yer 9:10Ayi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira,

kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira,

n’emiti gyonna egy’omu nnimiro

nagyo giyidde.

201:20 a Zab 104:21 b 1Bk 17:7Ensolo ez’omu nsiko nazo zikukaabira okuziyamba,

emigga gikalidde,

ne gye ziriira, omuddo gwonna guyidde.