Yoswa 7 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 7:1-26

Abayisirayiri balinnyibwa ku nfeete mu kibuga Ayi

17:1 a Yos 6:18 b Yos 22:20Abayisirayiri ne basobya bwe baatwala ku bintu ebyali ebiwonge; Akani mutabani wa Kaluni muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda, ne yeetwalira ebimu ku bintu ebyo: bw’atyo Mukama n’asunguwalira nnyo eggwanga lya Isirayiri.

27:2 Yos 18:12; 1Sa 13:5; 14:23Yoswa n’asindika abasajja okuva e Yeriko bagende mu kitundu kye Ayi okuliraana Besaveni ebuvanjuba wa Beseri, n’abakuutira nti, “Mugende mukette ensi eyo.” Nabo ne bagenda ne baketta Ayi.

3Ne bakomawo ne bategeeza Yoswa nti, “Tosindika bantu bangi kulumba Ayi wabula weerezaayo abantu nga enkumi bbiri oba ssatu be baba balumba. Toweerezaayo bantu bonna kubanga ab’omu Ayi si bangi.” 47:4 Lv 26:17; Ma 28:25Abayisirayiri ng’enkumi ssatu ne boolekera Ayi, kyokka abasajja be Ayi ne babafubutula emisinde 57:5 Lv 26:36; Yos 2:9, 11; Ez 21:7; Nak 2:10okubaggya ku wankaaki w’ekibuga okubatuusiza ddala emitala wa Sebalimu era Abayisirayiri ng’amakumi asatu mu mukaaga ne battibwa. Entiisa ne buutikira Abayisirayiri; emitima ne gibayenjebuka.

67:6 a Lub 37:29 b 1Sa 4:12; 2Sa 13:19; Nek 9:1; Yob 2:12; Kgb 2:10; Kub 18:19Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso g’Essanduuko ya Mukama okuzibya obudde. 77:7 Kuv 5:22Yoswa n’agamba nti, “Mukama Katonda nga kitalo kino! Wasomosezaaki Abayisirayiri omugga Yoludaani ate n’obaleka bazikirizibwe Abamoli? Bwe twali tukyali emitala wa Yoludaani tetwaliko kabi n’akatono! 8Ayi Mukama, Isirayiri adduse abalabe baabwe, nze nnaayogera ki kaakano! 97:9 Kuv 32:12; Ma 9:28Abakanani n’abali mu kitundu ekyo kyonna bwe banaakiwulira bajja kutwebungulula batusaanyeewo. Olwo erinnya lyo ekkulu bwe lityo liriba terikyavuga.”

10Mukama n’agamba Yoswa nti, “Golokoka. Kiki ekikuvuunamizza ku ttaka? 117:11 a Yos 6:17-19 b Bik 5:1-2Isirayiri eyonoonye kubanga bavudde ku ndagaano gye nabakuutira, ne batwala ku bintu ebiwonge, ne babitabika mu byabwe ate ne balimba. 127:12 a Kbl 14:45; Bal 2:14 b Yos 6:18Ka mbabuulire, okuggyako nga muzikiriza omubi ali mu mmwe, Abayisirayiri tebayinza kwolekera balabe baabwe, babadduka buddusi, kubanga nsazeewo bazikirizibwe.

137:13 Yos 3:5; 6:18“Golokoka otukuze abantu era obategeeze beetukuze nga beetegekera olw’enkya bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri. Waliwo ebikwekeddwa mu mmwe; okuggyako nga mubikwekula temuyinza kuwangula balabe bammwe.

147:14 Nge 16:33“ ‘Enkya mujjire mu bika byammwe, buli kika Mukama ky’anaalondamu kinaasembera luggya ku luggya, n’oluggya Mukama lw’anaalondamu lunajja nju ku nju, era enju Mukama gy’anaalondamu enejja muntu ku muntu. 157:15 a 1Sa 14:39 b nny 11 c Lub 34:7Naye oyo anaasangibwa n’ebintu ebiwonge anaayokebwa mu muliro ye n’ebyo byonna by’alina, kubanga amenye endagaano ya Mukama n’avumaganya Isirayiri.’ ”

Akani Akubwa Amayinja

16Yoswa yakeera nnyo n’akuŋŋaanya ebika byonna, yasookera ku kika kya Yuda era n’asembeza enju ya Yuda: 177:17 Kbl 26:20n’alondamu abo abazaalibwa Zeera, ate mu nju ya Zeera n’alondamu Zabudi n’ennyumba ye: 18ate mu bo n’alondamu Akani omwana wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda.

197:19 a 1Sa 6:5; Yer 13:16; Yk 9:24* b 1Sa 14:43Yoswa n’agamba Akani nti, “Mwana wange njagala oweese Mukama Katonda wa Isirayiri ekitiibwa era omugulumizise, ombuulire ky’okoze, tonkisa.”

20Akani n’addamu nti, “Mazima nayonoona eri Mukama Katonda wa Isirayiri era kino kye nakola. 217:21 Ma 7:25; Bef 5:5; 1Ti 6:10Bwe nalaba nga mu munyago mulimu ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaali7:21 Sinaali Mu Lwebbulaniya, Sinaali kyekimu ne Babulooni. n’ensimbi, n’effeeza ne zaabu ne mbyegomba, bwe ntyo ne mbitwala ne mbisimira mu ttaka mu weema yange.”

22Yoswa n’atuma ababaka mu weema ya Akani era ne babisangayo ng’abisimidde mu ttaka. 23Ne babifulumya ne babireeta eri Yoswa n’Abayisirayiri bonna, ne babissa mu maaso ga Mukama.

247:24 nny 26; Yos 15:7Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakwata Akani muzzukulu wa Zeera ne bye yanyaga: effeeza, ne zaabu, n’ekyambalo. Ne bamutwala ne batabani be, ne bawala be, n’ente ze n’endogoyi ze, n’endiga ze, n’eweema ye ne byonna bye yalina ne babiserengesa mu kiwonvu Akoli. 257:25 a Yos 6:18 b Ma 17:5Yoswa n’abuuza Akani nti, “Lwaki watuleetera ensasagge eno? Nga bwe wakola bw’otyo olwa leero naawe onookiraba Mukama ky’anaakukola.”

Abayisirayiri bonna ne bayiikira Akani, n’abaana be n’ebintu bye ne babakuba amayinja ne babatta era ne babakumako omuliro. 267:26 a Kbl 25:4; Ma 13:17 b nny 24; Is 65:10; Kos 2:15Ne balyoka babatuumako amayinja, n’okutuusa kaakano entuumu y’amayinja eyo gagadde ekyaliwo. Mukama n’alekera awo okukambuwalira Abayisirayiri, ekiwonvu mwe babattira kyekyava kiyitibwa Akoli n’okutuusa kaakano.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约书亚记 7:1-26

亚干犯罪

1以色列人在当毁灭之物的事上犯了罪。因为犹大支派中谢拉的曾孙、撒底的孙子、迦米的儿子亚干拿了一些本该毁灭的东西,耶和华便向以色列人发怒。

2当时,约书亚耶利哥派人去侦察伯特利东边靠近伯·亚文城。 3他们侦察回来后对约书亚说:“那里的居民很少,我们不必劳师动众派所有的人上去,只要派两三千人上去便可以攻取城。” 4于是,大约有三千以色列人去攻打城,不料却被城人击溃。 5城的人杀了他们三十六人,从城门前追杀他们,一直到示巴琳,在下坡处杀败他们。以色列人吓得心惊胆战。

6约书亚以色列的长老便撕裂衣服,把灰撒在头上,俯伏在耶和华的约柜面前,直到晚上。 7约书亚说:“唉!主耶和华啊,你让我们过了约旦河,为什么把我们交在亚摩利人手上,让他们毁灭我们呢?倒不如让我们住在约旦河对岸! 8主啊,现在以色列人被仇敌打败,我还有什么话可说呢? 9迦南人和这一带的人听到这消息以后,必从四面八方来围攻我们,将我们从地上斩尽杀绝。那时候,你的威名又何在呢?”

10耶和华对约书亚说:“起来吧!你为何俯伏在地? 11以色列人犯了罪,违背了我吩咐他们应守的约,偷拿了本该毁灭的东西放在自己的行囊里,还撒谎。 12所以,以色列人受咒诅,无法抵挡敌人,掉头败逃。你必须将那些本该毁灭的东西从你们中间除掉,不然我就不再与你们同在。 13起来吧!去吩咐民众洁净自己,让他们为明天洁净自己,因为以色列的上帝耶和华这样说,‘以色列啊!你们中间有本该毁灭的东西,你们不除掉这些东西就无法抵挡敌人。 14明天早上,你们要按支派一个一个前来,耶和华指出哪个支派,哪支派的各宗族便要前来。耶和华指出哪个宗族,哪宗族的各家族便要前来。耶和华指出哪个家族,哪家族的各成员便要前来。 15哪个人被指出拿了本该毁灭的东西,哪个人及其所有的东西就要被火焚烧。因为他违背了耶和华的约,在以色列人中做了可耻的事。’”

16第二天清早,约书亚按照支派召来以色列人,结果抽中犹大支派; 17他让犹大支派各宗族前来,结果抽中谢拉宗族;他让谢拉宗族前来,结果抽中撒底家族; 18他让撒底家族的人一个一个前来,结果抽中迦米的儿子亚干19约书亚亚干说:“孩子啊,我劝你把荣耀归给以色列的上帝耶和华,向祂认罪,把你所做的事告诉我,不要隐瞒。” 20亚干答道:“我的确得罪了以色列的上帝耶和华。事情是这样的, 21在夺得的财物中,我看上了一件漂亮的示拿外衣、两千二百克银子和五百五十克金子,我一时贪心便拿去了,藏在我帐篷的地底下,银子就放在衣服下面。”

22约书亚派人跑到他的帐篷里,果然在那里找到了那件衣服和衣服下面的银子。 23他们将这些东西带到约书亚和民众那里,摆在耶和华面前。 24约书亚和全体以色列人把谢拉家族的亚干、那些银子、衣服和金子及其儿女、牛、驴、羊、帐篷和一切所有都带到亚割谷。 25约书亚亚干说:“你为什么给我们惹祸呢?今天耶和华要降祸给你。”于是,以色列人便拿石头打死了他和他一切的人畜,将其烧毁。 26他们在亚干身上堆起一大堆石头,那些石头今天还在。耶和华这才息怒,因此那地方至今还叫亚割7:26 亚割”意思是“连累”。谷。