Yoswa 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 3:1-17

Abayisirayiri Beeteekerateekera Okusomoka Omugga Yoludaani

13:1 Yos 2:1Mu makya ennyo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bagolokoka okuva e Sittimu, bwe baatuuka ku mugga Yoludaani ne basooka balindirira awo nga tebannagusomoka. 23:2 Yos 1:11Bwe waayitawo ennaku ssatu abakulembeze baabwe ne babayitaayitamu 33:3 a Kbl 10:33 b Ma 31:9nga bwe babalagira nti, “Bwe munaalaba Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama Katonda wammwe, bakabona Abaleevi nga bagisitudde ne mulyoka muva mu kifo kino ne mugigoberera, 4kubanga lino ekkubo temuliyitangamu. Naye wakati wammwe nayo, mulekawo ebbanga nga lya fuuti enkumi ssatu muleme okugisemberera.”

53:5 Kuv 19:10, 14; Lv 20:7; Yos 7:13; 1Sa 16:5; Yo 2:16Awo Yoswa n’agamba Abayisirayiri nti, “Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola ebyamagero mu mmwe.” 6Ate Yoswa n’agamba bakabona nti, “Musitule Essanduuko era mukulemberemu abantu babagoberere.” Bakabona nabo ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira.

Mukama Asuubiza Yoswa

73:7 a Yos 4:14 b Yos 1:5Mukama n’agamba Yoswa nti, “Olwa leero ŋŋenda okukugulumiza mu maaso g’Abayisirayiri bonna balyoke bamanye nti nga bwe nnali ne Musa, era bwe ntyo bwe ndi naawe. 83:8 nny 3Bw’otyo onoolagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano nti bwe mutuuka ku mugga Yoludaani, muyimirire buyimirizi.” 9Yoswa n’ayita Abayisirayiri nti, “Musembere wano muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe. 103:10 a Ma 5:26; 2Bk 19:4, 16; Kos 1:10; Mat 16:16; 1Bs 1:9 b Kuv 33:2; Ma 7:1Olwa leero mugenda okutegeera nti Katonda omulamu ali mu mmwe, kubanga anaagobera ddala Abakanani, n’Abakiiti, n’Abakiivi, n’Abaperezi, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abayebusi mmwe nga mulaba. 113:11 nny 13; Yob 41:11; Zek 6:5Laba, Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama w’ensi zonna y’eneebakulemberamu nga musomoka omugga guno Yoludaani. 123:12 Yos 4:2, 4Kale nno mulonde abasajja kkumi na babiri okuva mu bika bya Isirayiri nga buli kika mulondamu omu omu: 133:13 a nny 11 b nny 16 c Kuv 15:8; Zab 78:13Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama w’ensi zonna, olunaalinnya ebigere byabwe mu mugga Yoludaani, amazzi agabadde gakulukuta gonna ganaayimirira ne geetuuma.”

Mukama Ayisa Abayisirayiri mu Mugga Yoludaani

143:14 a Zab 132:8 b Bik 7:44-45Awo Abayisirayiri ne basimbula weema zaabwe okusomoka Yoludaani nga bakulembeddwamu bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama. 153:15 Yos 4:18; 1By 12:15Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera eky’amakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani. 163:16 a Zab 66:6; 74:15 b 1Bk 4:12; 7:46 c nny 13 d Ma 1:1 e Lub 14:3Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. N’ago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja ey’Omunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko. 173:17 Kuv 14:22, 29Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama ne bayimirira wakati mu Yoludaani awatakyali mazzi okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka.