Yoswa 24 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 24:1-33

Obubaka bwa Yoswa Obusembayo

124:1 Yos 23:2Awo Yoswa n’akuŋŋaanya ebika byonna ebya Isirayiri e Sekemu, n’ayita abakadde ba Isirayiri n’abakulembeze, abalamuzi era n’abakungu ba Isirayiri ne bajja babeere mu maaso ga Mukama. 224:2 Lub 11:32Yoswa n’agamba abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Edda ennyo bajjajjammwe nga mulimu ne Teera kitaawe wa Ibulayimu baabeeranga emitala w’omugga Fulaati, gye basinzizanga bakatonda abalala. 324:3 a Lub 12:1 b Lub 15:5 c Lub 21:3Ne ndyoka nziggya jjajjammwe Ibulayimu emitala w’omugga, ne mmukulembera okumuyisa mu nsi ye Kanani, ne mmuwa Isaaka, ne mwongerako ezzadde. 424:4 a Lub 25:26 b Ma 2:5 c Lub 46:5-6Isaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Esawu ne mmuwa ensi ey’ensozi eya Seyiri. Naye Yakobo n’abaana be ne mbatwala e Misiri.

524:5 Kuv 3:10“ ‘Natuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Abamisiri n’ebibonoobono bye nabakola, oluvannyuma abaana ba Yakobo ne mbaggyayo. 624:6 Kuv 14:9Bwe naggya bajjajjammwe e Misiri mwatuuka ku Nnyanja Emyufu. Abamisiri abaali mu magaali, n’abeebagadde embalaasi ne bawondera bajjajjammwe okutuuka ku Nnyanja Emyufu. 724:7 a Kuv 14:20 b Kuv 14:28 c Ma 1:46Naye bajjajjammwe bwe baakaabirira Mukama Katonda abayambe, nateeka ekizikiza wakati wammwe n’Abamisiri; Abamisiri n’abayiwako ennyanja n’ebabuutikira. Amaaso gammwe ne galaba kye nakola Abamisiri; ne mutambulira mu ddungu okumala ebbanga ddene.

824:8 Kbl 21:31“ ‘Nabaleeta mu nsi ey’Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, ne babalwanyisa, ne mbagabula mu mukono gwammwe. Ne nzikiriza Abamoli okubamalawo mu maaso gammwe ensi yaabwe ne ngigabira mmwe. 924:9 a Kbl 22:2 b Kbl 22:6Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, bwe yasituka okulwanyisa Isirayiri, n’atumya Balamu mutabani wa Byoli abakolimire; 1024:10 Kbl 23:11; Ma 23:5naye Balamu saamuwuliriza, n’abawa buwi mukisa emirundi n’emirundi. Bwe ntyo ne mbanunula mu mukono gwe.

1124:11 a Yos 3:16-17 b Yos 6:1 c Kuv 23:23; Ma 7:1“ ‘Ne musomoka omugga Yoludaani ne mutuuka e Yeriko. Abantu b’omu Yeriko awamu n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abagirusi, n’Abakiivi, n’Abayebusi ne babalwanyisa naye ne mbagabula mu mukono gwammwe. 1224:12 Kuv 23:28; Ma 7:20; Zab 44:3, 6-7Ne ntuma ennumba ezabakulembera ezagoba abalabe bammwe mu maaso gammwe, nga mwe muli bakabaka ababiri Abamoli; si mmwe mwakikola n’ekitala kyammwe wadde obusaale. 1324:13 Ma 6:10-11Ne mbawa ensi gye mutaakolerera, ebibuga bye mutaazimba mwe mutudde kaakano, mulya ebibala by’emizabbibu n’emizeeyituuni bye mutaasimba.’

1424:14 a Ma 10:12; 18:13; 1Sa 12:24; 2Ko 1:12 b nny 23 c Ez 23:3“Noolwekyo kaakano mutye Mukama Katonda era mumuweereze mu bwesimbu era mu mazima, muggyeewo bakatonda babajjajjammwe be baawererezanga emitala w’omugga ne mu Misiri, muweereze Mukama Katonda. 1524:15 a Bal 6:10; Lus 1:15 b Lus 1:16; 1Bk 18:21Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda.”

16Abantu ne balyoka baddamu ne bagamba nti, “Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala. 17Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu Misiri mu nsi ey’obuddu, n’akola ebyewuunyo eby’ekitalo nga tulaba, n’atukuuma mu kkubo lyonna ne mu mawanga gonna ge twayitamu. 18Mukama Katonda n’agoba amawanga gonna mu maaso gaffe nga mwe muli Abamoli, abaali mu nsi. Naffe kyetunaava tuweerezanga Mukama Katonda, kubanga ye Katonda waffe.”

1924:19 a Lv 19:2; 20:26 b Kuv 20:5 c Kuv 23:21Yoswa n’agamba abantu nti, “Kizibu okuweereza Mukama, kubanga Katonda mutukuvu, Katonda wa buggya, taasonyiwenga bujeemu bwammwe newaakubadde ebibi byammwe. 2024:20 a 1By 28:9, 20 b Bik 7:42 c Yos 23:15Obanga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abalala, alibakyukira n’abazikiriza n’abamalawo ate nga bulijjo abadde abayisa bulungi.” 21Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Nedda, tunaweerezanga Mukama.” 2224:22 Zab 119:30, 173Yoswa n’agamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama Katonda.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.”

2324:23 a nny 14 b 1Bk 8:58; Zab 119:36; 141:4N’abagamba nti, “Kale muggyeewo bakatonda abalala abali wakati mu mmwe, era emitima gyammwe mugizze eri Mukama Katonda wa Isirayiri.” 2424:24 Kuv 19:8; 24:3, 7; Ma 5:27Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Tujja kuweerezanga Mukama Katonda waffe era tujja kumugonderanga.”

2524:25 a Kuv 24:8 b Kuv 15:25Awo Yoswa n’akola endagaano n’abantu ku lunaku olwo, n’abakolera amateeka n’ebiragiro. 2624:26 a Ma 31:24 b Lub 28:18Era n’awandiika ebintu bino mu kitabo ky’amateeka ekya Katonda, n’atwala ejjinja eddene ennyo n’aliteeka wansi w’omwera ogwali mu kifo kya Mukama Katonda ekitukuvu. 2724:27 Yos 22:27Yoswa n’agamba abantu nti, “Mulabe ejjinja lino lijja kubeeranga omujulizi gye tuli, liwulidde ebigambo byonna Mukama Katonda bya tugambye. Era lijja kubeeranga omujulizi gye muli bwe mutaabeerenga beesigwa eri Katonda wammwe.”

28Yoswa n’asindika abantu bagende, buli omu mu mugabo gwe.

2924:29 Bal 2:8Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Mukama, n’afa ng’awezezza emyaka kikumi mu kkumi. 3024:30 Yos 19:50Ne bamuziika mu ttaka ly’obusika bwe lye yaweebwa e Timunasusera, ekiri mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ku luuyi olw’obukiikakkono olw’olusozi Gaasi.

3124:31 Bal 2:7Abayisirayiri ne baweereza Mukama ennaku zonna ez’abakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa era abaamanya emirimu gyonna Mukama Katonda gye yakolera Isirayiri.

3224:32 a Lub 50:25; Kuv 13:19 b Lub 33:19; Yk 4:5; Bik 7:16N’amagumba ga Yusufu, abaana ba Isirayiri ge baggya e Misiri ne bagaziika e Sekemu, mu kifo ky’ettaka Yakobo kye yagula ebitundu bya ffeeza kikumi ku batabani ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu ne liba omugabo gw’abaana ba Yusufu.

3324:33 Yos 22:13Eriyazaali mutabani wa Alooni naye n’afa, n’aziikibwa ku lusozi Gibea olwaweebwa Finekaasi mutabani we, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约书亚记 24:1-33

重申耶和华的约

1约书亚示剑招聚以色列各支派,然后召来以色列的长老、族长、审判官和官长。他们一同站在上帝面前。 2约书亚对全体民众说:“以色列的上帝耶和华这样说,‘从前你们的祖先,包括亚伯拉罕拿鹤二人的父亲他拉,住在幼发拉底河那边拜别的神明。 3我把你们的祖先亚伯拉罕幼发拉底河那边带出来,领他走遍迦南,使他人丁兴旺。我把以撒赐给他, 4雅各以扫赐给以撒,把西珥山赐给以扫作产业,雅各和他的子孙则去了埃及5后来,我差遣摩西亚伦埃及,并用瘟疫攻击埃及人,把你们领出来。 6我引领你们的祖先离开埃及来到红海的时候,埃及人带领战车骑兵追了上来。 7你们的祖先大声呼求我,我就降下黑暗,把你们和埃及人分开,又用海水淹没埃及人。你们亲眼见过我在埃及的作为。后来,你们在旷野度过了一段漫长的岁月。 8我领你们来到约旦河东边亚摩利人居住的地方。他们跟你们争战,我把他们交在你们手中,使你们占领他们的土地作自己的产业。我把他们从你们面前全部消灭。 9那时,摩押西拨的儿子巴勒起兵攻打你们,并派人去召比珥的儿子巴兰来咒诅你们。 10我不但没有听巴兰的话,反而使他为你们连连祝福。这样,我从巴勒手中救了你们。 11你们过了约旦河来到耶利哥耶利哥人、亚摩利人、比利洗人、迦南人、人、革迦撒人、希未人和耶布斯人都跟你们交战,但我把他们交在你们手中。 12我差黄蜂飞在你们前面,把亚摩利的两个王从你们面前赶走,没有动用你们一刀一弓。 13你们没有开垦土地,也没有建造城邑,但我赐给你们土地和城邑,使你们住在其中,享用别人栽种的葡萄园和橄榄园的果子。’

14“所以,你们要敬畏耶和华,诚心诚意地事奉祂,摒弃你们祖先在幼发拉底河那边和在埃及所拜的神明,专心事奉耶和华。 15如果你们不愿意事奉耶和华,今天就选择你们的神明吧,或大河那边你们祖先事奉的神明,或你们这里亚摩利人的神明。至于我和我全家,我们必事奉耶和华。”

16民众答道:“我们决不背弃耶和华去事奉别的神明, 17因为我们的上帝耶和华曾领我们和我们的祖先脱离埃及人的奴役,在我们眼前行大神迹,一路保护我们安然经过列邦。 18耶和华把这地方的亚摩利人等外族人从我们面前赶走了,我们必事奉祂,因为祂是我们的上帝。”

19约书亚说:“你们不能事奉耶和华,祂是一位圣洁的上帝,祂痛恨不贞,必不赦免你们的过犯和罪恶。 20如果你们背弃耶和华,去拜外族的神明,尽管祂曾经恩待你们,也必降祸给你们,毁灭你们。” 21民众答道:“不,我们一定要事奉耶和华。” 22约书亚说:“现在你们自己作证,你们已选择事奉耶和华。”民众答道:“我们愿意自己作证。” 23约书亚说:“这样,你们现在就要摒弃你们中间的外族神明,专心归向以色列的上帝耶和华。” 24民众答道:“我们必事奉我们的上帝耶和华,听从祂的话。” 25当天约书亚与民众立约,在示剑为他们订立律例和典章。 26约书亚把这些话都写在上帝的律法书上,又把一块大石头竖立在耶和华圣所旁边的橡树下。 27然后,他对民众说:“看啊,这块石头可以为我们作证,它听到了耶和华所吩咐我们的话。如果你们背弃上帝,它必作证。” 28于是,约书亚命民众各自返回自己的地方。

约书亚去世

29后来,耶和华的仆人、的儿子约书亚去世了,享年一百一十岁。 30以色列人把他葬在他的土地上,就是在迦实山北边、以法莲山区的亭拿·西拉

31约书亚在世的时候,以色列人都事奉耶和华。他死后,在那些经历过耶和华奇妙作为的长老还健在期间,以色列人仍事奉耶和华。

32以色列人把从埃及带出来的约瑟的骸骨葬在示剑,在从前雅各用一百块银子向哈抹的子孙买的那块地里。哈抹示剑的父亲。后来那块地成了约瑟子孙的产业。

33亚伦的儿子以利亚撒也死了,他们把他葬在他儿子非尼哈分到的以法莲山区的基比亚