Yoswa 23 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 23:1-16

Yoswa Asiibula

123:1 a Ma 12:9; Yos 21:44 b Yos 13:1Bwe waayitawo ekiseera, Mukama Katonda ng’awadde Isirayiri emirembe mu njuyi zonna awaali abalabe, Yoswa ng’akaddiye ng’awangadde emyaka mingi, 223:2 a Yos 7:6 b Yos 24:1n’ayita Abayisirayiri bonna, abakadde baabwe n’abakulembeze baabwe, abalamuzi n’abakungu n’abagamba nti, “Kaakano nkaddiye era mmaze emyaka mingi; 323:3 Kuv 14:14mmwe bennyini mulabye byonna Mukama Katonda wammwe byakoze amawanga gano gonna ku lwammwe, kubanga Mukama Katonda wammwe yabalwaniridde. 423:4 a Yos 19:51 b Kbl 34:6Mulabe, ngabidde ebika byammwe amawanga ago agabadde gakyasigadde, amawanga gonna ge namala okuwangula, okuva ku Yoludaani okutuuka ku nnyanja ennene ebugwanjuba. 523:5 Kuv 23:30; Kbl 33:53Mukama Katonda ajja kubagoba babaviire abasindiikirize okuva mu maaso gammwe mutwale ensi yaabwe nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza.

623:6 Ma 5:32; Yos 1:7“Noolwekyo mwegendereze nnyo okukwata n’okukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kya Musa eky’amateeka, obutakyama kukivaako kudda ku ddyo wadde ku kkono. 723:7 a Kuv 23:13; Zab 16:4; Yer 5:7 b Kuv 20:5Temwetabanga n’amawanga gano agasigadde mu mmwe, wadde okwogera ku mannya ga bakatonda baabwe, okulayira mu mannya gaabwe okubaweereza wadde okubavuunamira. 823:8 Ma 10:20Naye munywerere ku Mukama Katonda wammwe nga bwe mukoze okutuusa leero.

923:9 a Ma 11:23 b Ma 7:24“Kubanga Mukama Katonda wammwe agobye amawanga amanene ag’amaanyi era n’okutuusa kaakano teri n’omu asobodde kubaziyiza. 1023:10 a Lv 26:8 b Kuv 14:14; Ma 3:22Omuntu omu ku mmwe agoba abantu lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe yaabalwanirira nga bwe yabasuubiza. 1123:11 Yos 22:5Noolwekyo mwekuume, mwagale Mukama Katonda wammwe, 1223:12 a Ma 7:3 b Kuv 34:16; Zab 106:34-35kubanga bwe munaamuvaangako ne mwegattanga n’abamawanga abaasigalawo abali mu mmwe, oba ne mufumbiriganwa ne mukolagananga nabo, 1323:13 a Kuv 23:33 b Kbl 33:55mukitegeererewo nti Mukama Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafuukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbiriizi, n’amaggwa aganaabafumitanga mu maaso gammwe okutuusa lwe mulizikirira mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawadde.

1423:14 a 1Bk 2:2 b Yos 21:45“Era kaakano nnaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi era mumanyi n’emitima gyammwe n’emmeeme yammwe mmwe mwenna nti, Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako. Byonna bibakoleddwa, tewali na kimu kiremye. 1523:15 Lv 26:17; Ma 28:15Naye ng’ebintu byonna ebirungi Mukama Katonda wammwe bye yabasuubiza nga bwe bibaweereddwa, bw’atyo Mukama bw’anaabatuusangako, ebibi byonna okutuusa ng’abazikirizza okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawadde. 1623:16 Ma 4:25-26Bwe munaamenyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yabalagira, ne mugenda ne muweerezanga bakatonda abalala ne mubavuunamiranga, obusungu bwa Mukama bunaaboolekeranga, ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gy’abawadde.”