Yoswa 19 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 19:1-51

Omugabo gwa Simyoni

119:1 nny 9; Lub 49:7N’akalulu akookubiri kaagwa ku Simyoni, kye kika ky’abaana ba Simyoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali n’omugabo gwabwe bwe gwali mu makkati g’omugabo gw’ekika kya Yuda. 219:2 Lub 21:14; 1Bk 19:3Kyali kitwaliramu

Beeruseba, oba Seba, ne Molada, 3ne Kazalusuwali ne Bala, ne Ezemu, 4ne Erutoladi ne Besuli, ne Koluma, 5ne Zikulagi ne Besumalukabosi, ne Kazalususa 6ne Besulebaosi ne Salukeni ebibuga kkumi na bisatu n’ebyalo byabyo.

719:7 Yos 15:42Ayini ne Limmoni ne Eseri, ne Asani ebibuga bina n’ebyalo byabyo, 819:8 Yos 10:40n’ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, ye Laama ekiri mu bukiikaddyo.

Ebyo bye bitundu abaana ba Simyoni bye baagabana ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 919:9 a Lub 49:7 b Ez 48:24Ettaka abaana ba Simyoni lye baagabana lyali wamu n’ery’abaana ba Yuda. Kubanga omugabo gw’abaana ba Yuda gwabasukkirira obunene; abaana ba Simyoni kyebaava bagabana wakati mu bitundu by’omugabo gwabwe.

Ensi ya Zebbulooni

1019:10 Yos 21:7, 34Akakulu akookusatu ne kagwa ku kika kya Zebbulooni, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

Era n’omugabo gwabwe ne gutuukira ddala ku Salidi. 1119:11 Yos 12:22Ensalo yaabwe n’eraga ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka e Malala, n’etuuka n’e Dabbesesi; ng’egendera ku kagga akali ku buvanjuba bwa Yokuneamu. 12Okuva ebuvanjuba wa Salidi ne yeeyongerayo enjuba gy’eva ng’egendera ku nsalo y’e Kisulosutaboli, ne Daberasi, ne yeebalama Yafiya. 1319:13 Yos 15:32Okuva eyo n’edda ebuvanjuba e Gasukeferi, okudda e Esukazini; ne yeeyongerayo e Limmoni, n’edda ku luuyi oluliko Nea. 14Ne yeebungulula mu bukiikakkono n’etuuka ku Kannasoni n’ekoma mu Kiwonvu kya Ifutakeri; 1519:15 Lub 35:19ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu19:15 Besirekemu Ekyogerwako wano si kyekimu ne Besirekemu ekya Yuda (1Sa 17:12; Lus 1:1), ebibuga kkumi na bibiri, n’ebyalo byabyo.

1619:16 a nny 10; Yos 21:7 b Ez 48:26Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Zebbulooni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Isakaali

1719:17 Lub 30:18Akalulu akookuna ne kagwa ku Isakaali, lye zadde lya Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali: 1819:18 a Yos 15:56 b 1Sa 28:4; 2Bk 4:8Omugabo gwabwe gwalimu

Yezuleeri ne Kesulosi ne Sunemu, 19ne Kafalaimu ne Sioni ne Anakalasi, 20ne Labbisi ne Kisioni ne Ebezi, 21ne Lemesi ne Engannimu ne Enkadda ne Besupazzezi.

2219:22 a Bal 4:6, 12; Zab 89:12 b Yos 15:10Ensalo n’ekwata ku Taboli ne Sakazuma ne Besusemesi n’ekoma ku mugga Yoludaani.

Ebibuga byonna awamu byali kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.

2319:23 a Yos 17:10 b Lub 49:15; Ez 48:25Ogwo gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Aseri

2419:24 Yos 17:7N’akalulu akookutaano ne kagwa ku kika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 25Ekitundu kyabwe kyalimu

Kerukasi ne Kali ne Beteni ne Akusafu, 2619:26 Yos 12:22ne Alammereki ne Amadi ne Misali ne kituuka ku Kalumeeri ku luuyi olw’ebuvanjuba ne ku Sikolulibunasi, 2719:27 a nny 10 b 1Bk 9:13ne kidda ebuvanjuba ne kyeyongerayo ku Besudagoni ne kituuka ku Zebbulooni ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw’omu bukiikakkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri ne kikoma ku Kabuli mu bukiikakkono. 2819:28 a Bal 1:31 b 1By 6:76 c Lub 10:19; Yos 11:8Ne kyeyongerayo ku Ebuloni ne Lekobu ne Kammoni ne Kana okutuuka ku Sidoni Ekinene. 2919:29 a Yos 18:25 b 2Sa 5:11; 24:7; Is 23:1; Yer 25:22; Ez 26:2 c Bal 1:31Ensalo n’edda ku Laama n’ekibuga ekiriko ekigo ekya Tuulo ne kyeyongerayo e Kosa n’eryoka ekoma ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu, 30ne Uma ne Afiki ne Lekobu byonna awamu ebibuga amakumi abiri n’ebyalo byabyo.

3119:31 Lub 30:13; Ez 48:2Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Ensi ya Nafutaali

32Akalulu akoomukaaga ne kagwa ku Nafutaali, be baana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

33N’ensalo yaabwe n’eva ku mwera oguli mu Zaanannimu e Kerefu ne Adaminekebu ne Yabuneeri okutuuka ku Lakkumu n’eryoka ekoma ku mugga Yoludaani. 34N’ewetera ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku Azunnosutaboli ne yeeyongerayo ku Kukkoki, ne yeeyongerayo e Zebbulooni mu bukiikaddyo, n’ekwata ku Aseri mu bugwanjuba, ne ku Yuda ekiri ku Yoludaani ebuvanjuba.

3519:35 Yos 11:2N’ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, ne Zeri, ne Kammasi, ne Lakkasi, ne Kinneresi, 3619:36 a Yos 18:25 b Yos 11:1ne Adama ne Laama ne Kazoli, 3719:37 Kbl 21:33ne Kasedi ne Ederei, ne Enkazoli, 38ne Ironi ne Migudaleri, ne Kolemu ne Besuanasi ne Besusemesi,

ebibuga kkumi na mwenda n’ebyalo byabyo.

3919:39 Ma 33:23; Ez 48:3Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Ddaani

40Akalulu akoomusanvu kaagwa ku kika ky’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 41N’ekitundu ky’omugabo gwabwe ne kitwaliramu

Zola ne Esutaoli ne Irusemesi 4219:42 Bal 1:35ne Saalabbini ne Ayalooni ne Isula 4319:43 Lub 38:12ne Eroni ne Timuna ne Ekuloni 44ne Eruteke ne Gibbesoni ne Baalasi 4519:45 Yos 21:24; 1By 6:69ne Yekudi ne Beneberaki ne Gasulimmoni 4619:46 2By 2:16; Yon 1:3ne Meyalakoni ne Lakoni n’ensalo etunuulidde Yafo.

4719:47 a Bal 18:1 b Bal 18:7, 14 c Bal 18:27, 29Naye abaana ba Ddaani baalina obuzibu okutwala omugabo gwabwe ne bagenda ne balumba Lesemu ne bakiwangula ne batta abantu baamu n’ekitala ne babeera omwo, ne bakituuma Ddaani ly’erinnya lya jjajjaabwe.

4819:48 Lub 30:6Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

Omugabo gwa Yoswa

49Nga bamaze okugabana ensi mu bitundu eby’enjawulo abaana ba Isirayiri ne bawa Yoswa mutabani wa Nuuni omugabo mu bo 5019:50 Yos 24:30ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, Timunasusera mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. Omwo mwe yazimba ekibuga mwe yabeera.

5119:51 Yos 14:1; 18:10; Bik 13:19Bino bye bitundu Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu b’ebika bya Isirayiri bye bagabana okuyita mu kalulu e Siiro nga beebuuza ku Mukama mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.