Yoswa 18 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 18:1-28

Okugabana Ettaka eryali Lisigaddewo

118:1 a Yos 19:51; 21:2; Bal 18:31; 21:12, 19; 1Sa 1:3; 4:3; Yer 7:12; 26:6 b Kuv 27:21Ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu Siiro18:1 Siiro Kyali kilomita ng’amakumi ana okuva e Yerusaalemi. Kyali kifuuse kibuga kya byabufuzi ate nga ky’ekifo ekikulu awasinzibwa mu Isirayiri. Eweema ya Mukama yasigala mu Siiro okutuusa mu biro bya Samwiri (1Sa 4:1-11) lwe yaggyibwayo n’etwalibwa e Gibyoni (1By 21:29). ne basimba eyo Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ensi yali mu mikono gyabwe, 2wabula waali wakyaliwo ebika musanvu ebya Isirayiri ebyali tebinnafuna mugabo gwabyo.

3Yoswa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Mulituusa ddi okulinda nga temunnafuna mugabo Mukama Katonda wa bajjajjammwe gwe yabawa? 418:4 Mi 2:5Mulonde abantu basatu mu buli kika mbatume bayite mu nsi bagyetegereze, ng’emigabo gyabwe bwe giri era bawandiike ng’emigabo gyabwe bwe giri bakomewo bantegeeze. 518:5 a Yos 15:1 b Yos 16:1-4Baligigabanyaamu ebitundu musanvu Yuda esigale mu bitundu byayo mu bukiikaddyo n’ennyumba ya Yusufu mu bitundu byayo mu bukiikakkono. 618:6 Yos 14:2Nga mumaze okugabanya ensi mu bitundu musanvu mundeetere bye muwandiise mbakubire obululu mu maaso ga Mukama Katonda waffe. 718:7 a Yos 13:33 b Yos 13:8Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe kubanga obwakabona bwa Mukama gwe mugabo gwabwe, ne Gaadi, ne Lewubeeni n’ekitundu eky’ekika kya Manase bo baamala okuweebwa omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama gwe yabawa.”

818:8 nny 1Abantu ne bagenda okulaba ensi bw’efaanana, Yoswa n’alagira be baali batumye nti, “Mugende mutambuletambule mu nsi mugyetegereze bw’efaanana, mukomewo mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama e Siiro.” 9Awo ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bawandiika ebitundu musanvu ebifa ku bibuga mu kitabo, ne bakomawo ewa Yoswa mu lusiisira e Siiro. 1018:10 a Kbl 34:13 b nny 1; Yer 7:12 c Kbl 33:54; Yos 19:51Awo Yoswa n’abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama n’agabanyiza abaana ba Isirayiri ensi ng’ebitundu byabwe bwe byali.

Omugabo gwa Benyamini

11Awo akalulu k’ekika kya Benyamini, okusinziira ku nnyumba mwe bazaalibwa, ne katuuka era omugabo gwe baafuna ne guba mu makkati g’abaana ba Yuda n’abaana ba Yusufu.

1218:12 a Yos 16:1 b Yos 7:2Ku luuyi olw’obukiikakkono ensalo yaabwe ne tandikira ku Yoludaani ne yeeyongera ku njegoyego z’obukiikakkono bwa Yeriko n’eyambuka mu nsi ey’ensozi ebugwanjuba n’ekomekkereza mu ddungu ly’e Besaveni. 1318:13 a Lub 28:19 b Bal 1:23 c Yos 16:5Ensalo n’esala okuva mu bukiikaddyo n’etuuka e Luzi ye Beseri ne yeeyongera mu bukiikaddyo e Atalosuaddali kumpi n’olusozi oluli wammanga mu bukiikaddyo obwa Besukolooni.

1418:14 Yos 10:10Ensalo ne yeeyongerayo okuva ku lusozi olutunuulidde Besukolooni n’eraga ku bukiikaddyo n’edda ebuvanjuba n’etuuka e Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, kye kibuga ky’abaana ba Yuda. Olwo lwe luuyi olw’ebugwanjuba.

1518:15 Yos 15:9Oluuyi olw’obukiikaddyo lwatandikira ku njegoyego za Kiriyasuyalimu gye kikoma n’edda ebuvanjuba, ensalo ne yeeyongerayo ku nsulo ez’amazzi aga Nefutoa. 1618:16 a Yos 15:8; 2Bk 23:10 b Yos 15:7Ate era ensalo n’ekkirira olusozi we lukoma, olutunudde mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri mu bukiikakkono lw’ekiwonvu kya Lefa, n’ekkirira mu kiwonvu kya Kinomu ekiri mu bukiikaddyo bw’ekibuga Yebusi, n’ekka ku Enerogeri. 1718:17 Yos 15:6N’eryoka yeebungulula ng’eva mu bukiikakkono n’etuuka ku Ensomesi ne yeeyongerayo e Gerirosi ekitunuulidde ekkubo eryambuka okugenda Adummiru n’eyita n’etuuka ku jjinja lya Bokani mutabani wa Lewubeeni, 1818:18 Yos 15:6ne yeeyongerayo mu bukiikakkono ku luuyi lwa Besi Alaba okutuuka ku Alaba, 1918:19 Lub 14:3ne yeeyongerayo mu bukiikakkono obwa Besukogula bw’etyo ensalo n’ekoma ku bukiikakkono bw’Ennyanja ey’Omunnyo mu bukiikaddyo bw’omugga Yoludaani. Eyo y’ensalo ey’oku bukiikaddyo.

2018:20 Yos 21:4, 17; 1Sa 9:1Yoludaani ye yali ensalo ku luuyi olw’ebuvanjuba. Guno gwe gwali omugabo gw’ekika kya Benyamini ng’enju bwe zaali, ng’ensalo bwe zaali era ng’enju zaabwe bwe zaali.

21Kale nno ebibuga by’ekika ky’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali byali:

Yeriko ne Besukogula ne Emekkezizi, 2218:22 Yos 16:1ne Besualaba ne Zemalayimu ne Beseri, 23ne Avvimu ne Pala ne Ofula, 2418:24 Is 10:29ne Kefalamoni ne Ofuni ne Geba ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo.

2518:25 a Yos 9:3 b Bal 4:5 c Yos 9:17Gibyoni ne Laama ne Beerosi, 2618:26 Yos 11:3ne Mizupe ne Kefira ne Moza, 27ne Lekemu ne Irupeeri ne Talala, 2818:28 a 2Sa 21:14 b Yos 15:8 c Yos 10:1 d Yos 15:57ne Zeera, Erefu n’Omuyebusi, ye Yerusaalemi, ne Gibeasi ne Kiriasi ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.

Ogwo gwe gwali omugabo ogw’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约书亚记 18:1-28

其余土地的分配

1征服了这些地方以后,以色列全体会众都聚集在示罗,把会幕设立在那里。 2这时,以色列还有七个支派没有分到产业。 3约书亚对他们说:“你们等到什么时候才去占领你们祖先的上帝耶和华赐给你们的土地呢? 4你们每支派要派出三个人,我要差他们去侦察,按各支派应得的土地绘制地图,然后回来禀告我。 5他们要把土地划分作七份。犹大要留在南部自己的领土上,约瑟家族要留在北部自己的领土上。 6你们把这七份土地绘成地图交给我,我要在我们的上帝耶和华面前为你们抽签。 7你们当中的利未人没有份,因为做耶和华的祭司这职任就是他们的产业。至于迦得支派、吕便支派和玛拿西半个支派,摩西已把约旦河东的土地分给他们了。”

8那些画地图的人启程出发的时候,约书亚嘱咐他们说:“你们要走遍那里,绘制地图,然后回来禀告我,我要在示罗,在耶和华面前为你们抽签。” 9于是,他们走遍那里,把所有城邑分作七份,绘在册上,然后回到示罗约书亚10约书亚便在示罗按照以色列的支派,在耶和华面前为他们抽签分地。

便雅悯支派分到的土地

11便雅悯支派按宗族抽签分到的领土,坐落在犹大约瑟支派的领土之间。 12他们北部的边界从约旦河起,沿耶利哥北面的山坡直上,往西穿过山区,直到伯·亚文的旷野; 13从那里经路斯,即伯特利南面山坡到下·和仑南面山区的亚他绿·亚达14西面的边界自伯·和仑对面山的西侧向南直到犹大人的基列·巴力,即基列·耶琳15南部边界从基列·耶琳的边界开始向西直到尼弗多亚的水泉, 16又往下到欣嫩子谷对面的山麓,也就是利乏音谷北边,然后往南,经欣嫩谷到耶布斯山南部,直到隐·罗结17然后,向北先后到隐·示麦亚都冥山坡对面的基利绿吕便的儿子波罕所立的大石, 18以及亚拉巴的对面,再往北下到亚拉巴19又沿着伯·曷拉的北面直到盐海的北岸,也就是约旦河的南部河口。这是南部的边界。 20东面以约旦河为界。这是便雅悯人按宗族分到的土地和四周的边界。

21以下是便雅悯支派按宗族分到的城邑:耶利哥伯·曷拉伊麦·基悉22伯·亚拉巴西玛莲伯特利23亚文巴拉俄弗拉24基法·阿摩尼俄弗尼迦巴,共十二座城及其附近的乡村。 25还有基遍拉玛比录26米斯巴基非拉摩撒27利坚伊利毗勒他拉拉28洗拉以利弗耶布斯——即耶路撒冷基比亚基列,共十四座城及其附近的乡村。

这就是便雅悯各宗族所分到的土地。