Yoswa 15 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 15:1-63

Ensalo za Yuda

115:1 a Kbl 34:3 b Kbl 33:36Omugabo gw’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali bwe baakuba akalulu, baaweebwa ekitundu okutuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku nkomerero y’oluuyi olw’obukiikaddyo.

2N’ensalo yaabwe ey’oluuyi olwo okuva ku Nnyanja ey’Omunnyo w’eva, ku kikono ekitunudde mu bukiikaddyo; 315:3 Kbl 34:4n’esala wansi w’ekkubo eririnnya ku Akkulabimu n’eyita okutuuka ku Zini n’erinnya okuyita wansi wa Kadesubanea, n’eyita kumpi ne Kezulooni, n’erinnya ku Addali, n’ekyamira ku Kaluka; 415:4 a Kbl 34:5 b Lub 15:18n’eyita ku Azumoni n’ekoma ku mugga ogw’e Misiri, n’eryoka esibira ku nnyanja. Eno ye yali ensalo yaabwe ey’obukiikaddyo.

515:5 a Kbl 34:10 b Yos 18:15-19N’ensalo yaabwe ey’obuvanjuba yali nnyanja ey’obukiikakkono. Kyali kikono kya Yoludaani we guyiyira ku Nnyanja ey’Omunnyo.

N’ensalo ey’obukiikakkono kyali kikono kya nnyanja Yoludaani we guyiyiramu. 615:6 a Yos 18:19, 21 b Yos 18:17N’eyambuka n’eyita ku Besukogula n’eyita ku luuyi lw’ebuvanjuba bwa Besualaba n’eyambuka okutuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni. 715:7 a Yos 7:24 b 2Sa 17:17; 1Bk 1:9Era n’erinnya ku Debiri okuva mu kiwonvu Akoli, n’egenda ku luuyi olw’obukiikakkono, n’edda e Girugaali emitala w’ekkubo eryambuka ku Adummimu, ekiri emitala w’omugga mu bukiikaddyo, n’etuuka ku nsalo ku mazzi ag’e Ensemesi, n’esala n’ekoma ku Enerogeri. Awo n’eryoka eyita ku kiwonvu kya Kinomu ku luuyi lw’ebugwanjuba ekyali ku nkomerero ey’ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw’obukiikakkono. 815:8 nny 63Awo n’eryoka eva ku kiwonvu ky’omwana wa Kinomu n’etuuka ku njegoyego za Yebusi ku luuyi olw’obukiikaddyo ye Yerusaalemi, ne yeeyongera ku ntikko y’olusozi oluli w’okkira mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw’ebugwanjuba, ku nkomerero y’ekiwonvu kya Lefayimu mu bukiikakkono; 915:9 a Yos 18:15 b 1By 13:6ne yeeyongera okuva ku ntikko y’olusozi n’etuuka ku luzzi olw’amazzi ga Nefutoa, ne yeeyongerayo n’etuuka ku bibuga eby’oku lusozi Efuloni, n’etuuka ku Baala, ye Kiriyasuyalimu, 1015:10 Lub 38:12n’ewetamu okuva e Baala ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku lusozi Sayiri n’eyita n’etuuka ku mabbali g’olusozi Yealimu ku luuyi olw’omu bukiikakkono, ye Kyesaloni, n’ekka ku Besusemesi, n’eyita ku Timuna, 1115:11 Yos 19:33n’egenda ku mabbali ag’e Ekuloni mu bukiikakkono, n’ekka ku Sikkeroni n’etuuka ku lusozi Baala, n’ekoma ku Yabuneeri, ne ku nnyanja.

1215:12 Kbl 34:6Ensalo ey’ebugwanjuba yali Ennyanja Ennene n’olubalama lwayo.

Eyo ye yali ensalo y’abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng’enju zaabwe bwe zaali.

Omugabo gwa Kalebu

1315:13 Yos 14:13-15Yoswa n’awa Kalebu omwana wa Yefune omugabo mu baana ba Yuda Kiriasualuba, ye Kebbulooni, ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Aluba ye yali kitaawe wa Anaki. 1415:14 a Kbl 13:33 b Kbl 13:22 c Bal 1:10, 20Kalebu n’agobamu abaana abasatu aba Anaki: Sesayi ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki. 15N’ava eyo n’alumba abaali mu Debiri, edda eyayitibwanga Kiriasuseferi. 1615:16 Bal 1:12Kalebu n’agamba nti, “Anaakuba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa amuwase.” 1715:17 Bal 3:9, 11Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n’akikuba, Kalebu n’amuwa Akusa muwala we amuwase.

18Awo bwe yajja gy’ali, n’amugamba asabe kitaawe ennimiro. Bwe yava ku ndogoyi ye, Kalebu n’amubuuza nti, “Kiki kyoyagala nkukolere?” 19N’addamu nti, “Nsaba onnyambe nga bwe wampa ettaka mu Negebu, ompe n’ensulo z’amazzi.” Kalebu n’amuwa ensulo ez’engulu n’ez’emmanga.

Omugabo gwa Yuda

20Guno gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali.

2115:21 Lub 35:21Ebibuga ebyali bisemberayo ddala mu bukiikaddyo mu Negebu eri ensalo ya Edomu byali,

Kabuzeeri, n’e Ederei n’e Yaguli, 22n’e Kina n’e Dimona, n’e Adada, 23n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Isunani, 2415:24 1Sa 23:14n’e Zifu, n’e Teremu n’e Beyaloosi, 25n’e Kazolukadatta, n’e Keriosukezulooni, ye Kazoli, 2615:26 1By 4:28n’e Amamu n’e Sema, n’e Molada, 27n’e Kazalugadda n’e Kesuboni, n’e Besupereti 2815:28 Lub 21:31n’e Kazalusuwali, n’e Beeruseba n’e Biziosia 29n’e Baala n’e Yimu, n’e Ezemu, 3015:30 Yos 19:4n’e Erutoladi n’e Kyesiri n’e Koluma, 3115:31 1Sa 27:6n’e Zikulagi, n’e Madumanna, n’e Samusanna, 3215:32 Bal 20:45n’e Lebaosi, n’e Sirukimu, n’e Ayini, n’e Limmoni. Ebibuga byonna awamu amakumi abiri mu mwenda, n’ebyalo byabyo.

3315:33 Bal 13:25; 16:31Era ne mu nsi ey’ensenyi Esutaoli, n’e Zola, n’e Asuna, 3415:34 1By 4:18; Nek 3:13n’e Zanowa n’e Engannimu, n’e Tappua, n’e Enamu, 3515:35 Yos 10:3n’e Yalamusi n’e Adulamu, n’e Soko, n’e Azeka 3615:36 1By 12:4n’e Saalayimu, n’e Adisaimu, n’e Gedera, n’e Gederosaimu, ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.

37Zenani, n’e Kadasa, n’e Migudalugadi, 3815:38 2Bk 14:7n’e Dirani, n’e Mizupe, n’e Yokuseeri, 3915:39 a Yos 10:3; 2Bk 14:19 b 2Bk 22:1n’e Lakisi, n’e Bozukasi, n’e Eguloni, 40n’e Kabboni, n’e Lamamu, n’e Kitulisi, 4115:41 Yos 10:10n’e Gederosi, Besudagoni, n’e Naama, n’e Makkeda, ebibuga kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.

4215:42 1Sa 30:30Libuna n’e Eseri, n’e Asani, 43n’e Ifuta n’e Asuna, n’e Nezibu, 4415:44 a Bal 1:31 b Mi 1:15n’e Keira, n’e Akuzibu, n’e Malesa, ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.

45Ekuloni n’ebibuga byamu n’ebyalo byakyo, 46okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, ebibuga byonna ebiriraanye Asudodi n’ebyalo byabyo; 4715:47 a Yos 11:22 b nny 4 c Kbl 34:6Asudodi, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo okutuuka ku mugga ogw’e Misiri, n’ennyanja ennene, n’ensalo yaayo.

4815:48 1Sa 30:27Ne mu nsi ey’ensozi,

Samiri, n’e Yattiri, n’e Soko, 4915:49 Yos 10:3ne Danna, ne Kiriasusanna, ye Debiri, 5015:50 Yos 21:14ne Anabu, n’e Esutemoa, n’e Animu, 5115:51 Yos 10:41n’e Goseni, n’e Koloni, n’e Giro, ebibuga kkumi na kimu n’ebyalo byabyo.

5215:52 Lub 25:14Alabu, n’e Duma, n’e Esani, 53n’e Yanimu, n’e Besutappua, n’e Afeka, 54n’e Kumuta n’e Kiriasualuba, ye Kebbulooni, n’e Zioli ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.

5515:55 Yos 12:22Mawoni, n’e Kalumeeri, n’e Zifu, n’e Yuta, 5615:56 Yos 17:16n’e Yezuleeri, n’e Yokudeamu, n’e Zanoa, 5715:57 Yos 18:28; Bal 19:12Kaini, n’e Gibea, n’e Timuna, ebibuga kkumi n’ebyalo byabyo.

5815:58 1By 2:45Kalukuli, Besuzuli, n’e Gedoli; 59n’e Maalasi, n’e Besuanosi, n’e Erutekoni, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.

6015:60 a Yos 18:14 b Ma 3:11Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, n’e Laaba ebibuga bibiri n’ebyalo byabyo.

61Mu ddungu:

Besualaba, n’e Middini, n’e Sekaka, 6215:62 1Sa 23:29n’e Nibusani, n’ekibuga eky’omunnyo, n’e Engedi, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.

6315:63 a Bal 1:21 b 2Sa 5:6Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu; Abayebusi ne babeera wamu n’abaana ba Yuda mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.