Yoswa 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 14:1-15

Okugabanya ensi ebuvanjuba bwa Yoludaani

114:1 Kbl 34:17-18Bino by’ebitundu Abayisirayiri bye baafuna ng’omugabo mu nsi y’e Kanani, Eriyazaali14:1 Eriyazaali Yali mutabani wa Alooni. kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuuni, n’emitwe gy’ennyumba eza bakitaabwe ez’ebika by’abaana ba Isirayiri bye baabagabira. 214:2 Kbl 26:55Emigabo baagifunanga nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa olw’ebika omwenda n’ekitundu, 314:3 a Kbl 32:33 b Yos 13:14kubanga Musa yali agabidde ebika ebibiri n’ekitundu omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani, naye Abaleevi bo teyabagabira; 414:4 Lub 41:52; 48:5kubanga abaana ba Yusufu baali bafuuse ebika bibiri, Manase ne Efulayimu14:4 Manase ne Efulayimu Yakobo yali yeetwalidde abaana ba Yusufu okuba ababe (Lub 48:5). Noolwekyo baali bateekwa okugabana ku by’obusika ng’abaana abalala bonna aba Yakobo., bo Abaleevi ne bataweebwa mugabo gwonna mu nsi, wabula ebibuga byokka eby’okubeeramu, n’ensiko ey’okulundiramu ebisibo byabwe n’ebintu byabwe. 514:5 Kbl 34:13; 35:2; Yos 21:2Abantu ba Isirayiri ne bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.

Kalebu Afuna Kebbulooni

614:6 a Kbl 13:6; 14:30 b Kbl 13:26Abantu ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa e Girugaali, ne Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi n’amugamba nti, “Omanyi Mukama kye yayogera ne Musa omusajja wa Katonda e Kadesubanea ekikwata ku ggwe nange. 714:7 a Kbl 13:17 b Kbl 13:30; 14:6-9Nalina emyaka amakumi ana, Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi, era namuleteera ekigambo nga bwe kyali mu mutima gwange. 814:8 a Kbl 13:31 b Kbl 14:24Naye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gy’abantu okuggwaamu amaanyi olw’okutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange n’omutima gwange gwonna. 914:9 Kbl 14:24; Ma 1:36Era Musa yandayirira nti, ‘Ensi ebigere byo kwe biririnnya, mugabo gwo n’abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogoberedde Mukama Katonda wange n’omutima gwo gwonna.’

1014:10 Kbl 14:30“Era kaakano Mukama ampangaazizza nga bwe yayogera emyaka gino amakumi ana okuva lwe yakigamba Musa, nga Isirayiri etambula mu ddungu. Era laba kaakano ndi wa myaka kinaana! 1114:11 Ma 34:7Nkyalina amaanyi leero nga ge nalina Musa bwe yantuma, amaanyi ge nnina leero galinga ge nalina mu kulwana, mu kufuluma ne mu kuyingira. 1214:12 a Kbl 13:33 b Kbl 13:28Kale noolwekyo mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogera ku lunaku luli, kubanga wawulira ku olwo ng’Abanaki kwe baali n’ebibuga ebinene ebiriko enkomera. Mukama nga ye mubeezi wange, nnaabagoba nga Mukama bwe yayogera.”

1314:13 a Yos 22:6, 7 b Yos 10:36 c Bal 1:20; 1By 6:56Yoswa n’amusabira omukisa n’awa Kalebu omwana wa Yefune Omukenezi Kebbulooni okuba omugabo gwe. 14Olusozi Kebbulooni ne lufuuka lwa Kalebu mutabani wa Yefune ne leero, kubanga yagoberera ddala Mukama Katonda wa Isirayiri. 1514:15 a Lub 23:2 b Yos 15:13 c Yos 11:23Kebbulooni edda kyayitibwanga Kiriasualuba era Aluba ye yali omukulu asingayo mu Banaki.

Olwo ensi n’eryoka ewummula n’etebaamu ntalo.