Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Yoswa 1

1Awo Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama n’agamba Yoswa mutabani wa Nuuni, eyali omubeezi wa Musa nti, “Musa omuweereza wange afudde, kale kaakano weeteeketeeke osomoke omugga guno Yoludaani ggwe awamu n’abantu bano bonna mulyoke muyingire mu nsi eno gye mbawa mmwe abaana ba Isirayiri[a]. Nga bwe nasuubiza Musa, buli we munaalinnyanga ekigere, mbawaddewo. Mbawadde ekitundu ekyo kyonna okuviira ddala ku ddungu ne ku Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, Fulaati, n’ensi ey’Abakiiti n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba. Tewali n’omu alisobola kubaziyiza ennaku zonna ez’obulamu bwo; nga bwe nabeeranga ne Musa era bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe, sirikuleka wadde okukwabuulira.

“Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe oligabira abantu bano ensi gye nasuubiza edda bajjajjaabwe. Ddamu amaanyi era beera muzira, byonna by’okola obyesigamye ku mateeka omuweereza wange Musa ge yakulagira; togaviirangako ddala, oleme okukyama ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono olyoke obenga omuwanguzi buli gy’onoogendanga. Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana. Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga.”

10 Bw’atyo ne Yoswa n’alagira abakulembeze b’Abayisirayiri nti, 11 “Muyite mu lusiisira lwonna nga mutegeeza abantu bonna nti, ‘Mwesibire entanda kubanga mu nnaku ssatu mulisomoka omugga guno Yoludaani mulyoke mugabane ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa.’ ”

12 Yoswa n’agamba ab’ekika kya Lewubeeni, n’ab’ekika kya Gaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase nti, 13 “Mujjukire omuweereza wa Mukama Musa kye yabalagira ng’agamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky’okuwummuliramu era alibawa ensi eno.’ 14 Bakazi bammwe, n’abaana bammwe abato balisigala wano awamu n’amagana gammwe mu kitundu kino Musa kye yabawa edda ebuvanjuba w’omugga Yoludaani. Naye abasajja bammwe enkwatangabo nga bambalidde ebyokulwanyisa, bateekwa okubakulemberamu n’okubalwanirira, 15 okutuusa baganda bammwe abo nabo Mukama lw’alibawa ensi eyo n’abatebenkeza. N’oluvannyuma mulikomawo mu kitundu kino Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa emitala wa Yoludaani okwolekera ebuvanjuba.”

16 Awo ne baanukula Yoswa nti, “Byonna by’otukalaatidde tunaabikola era tunaagenda yonna gy’onootusindika. 17 Nga bwe twagonderanga Musa mu byonna naawe bwe tunaakugonderanga tutyo; Mukama Katonda wo abeerenga naawe nga bwe yabeeranga ne Musa. 18 Buli anaajeemeranga ebigambo byo n’atabiwuliriza anattibwanga. Ddamu amaanyi, guma omwoyo.”

Notas al pie

  1. 1:2 Mu biro ebyo Abayisirayiri baali mu Sittimu (2:1) mu nsi y’e Mowaabu (Ma 34:3) okumpi ne Yoludaani.

Japanese Living Bible

ヨシュア記 1

新しい指導者ヨシュア

1主に忠実に従ったモーセが死ぬと、彼に仕えていたヌンの子ヨシュアに、神は告げて言いました。 「わたしのしもべモーセは死んだ。あなたこそ次のイスラエルを担う新しい指導者だ。さあ、人々を率いてヨルダン川を渡り、約束の地へ行きなさい。 モーセに約束したとおりのことをあなたにも約束しよう。『あなたがたの行く所はどこも、イスラエルの領地となる。 南はネゲブの砂漠から北はレバノン山脈まで、西は地中海から東はユーフラテス川まで、ヘテ人の全領地も含まれる。』 一生の間、あなたに手向かう者などいない。わたしがモーセと共に歩んだように、あなたとも共に歩むからだ。決して見放したり、見捨てたりはしない。 ヨシュアよ、雄々しく立ち、勇気を出しなさい。りっぱな指導者になるのだ。わたしが先祖に与えると約束した地を全部、占領しなさい。 強く雄々しくあって、勇気を出しなさい。モーセが与えた律法をしっかり守りなさい。そうすれば、あなたは成功する。 人々に、律法をいつも思い出させなさい。まずあなたが、昼も夜も律法を忘れず、それを完全に守るよう心がけなさい。模範を示し、どんなことも律法どおりきちんと行わなければならない。成功するもしないも、すべてその一点にかかっている。 さあ、勇気を出しなさい。恐れたり迷ったりしてはならない。どこへ行っても、あなたの神であるわたしがついている。」

10-11 ヨシュアは指導者たちを集め、人々にヨルダン川を渡る準備をさせるよう命じました。そして、はっきりと宣言したのです。「三日以内にわれわれはヨルダン川を渡る。神様が与えてくださる地を占領するのだ。」

12-13 それから、ルベン族とガド族、およびマナセの半部族の族長たちを召集し、彼らがモーセと取りかわした協定を思い出させました。その協定とは、こうでした。「主は、ヨルダン川の東側のこの地を、彼らの安住の地としてお与えになった。 14 だから、妻子と家畜はここに落ち着いてよい。ただし、武装した彼らの部隊が、他の部族よりも先にヨルダン川を渡り、川の西側の約束された領地を占領するために手を貸すこと。 15 他の部族がその地を完全に征服するまで、共に行動すること。その任務を果たして初めて、ヨルダン川の東側の地に落ち着くこと。」

16 彼らはそれを受け入れ、ヨシュアを総指揮官として、その命令に従うことを堅く誓いました。 17-18 「私たちは、モーセに従ったと同様、あなたに従います。主がモーセとともにおられたように、あなたにも伴われますように。ご命令に逆らう者はだれであろうと死に値します。どうぞ遠慮なく、断固とした姿勢で臨んでください。」