Yona 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yona 2:1-10

Okusaba Kwa Yona

1Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba 22:2 Zab 18:6; 120:1nti,

“Mu nnaku yange ennyingi

nakaabirira Mukama n’anziramu;

mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola,

era n’owulira eddoboozi lyange!

32:3 a Zab 88:6 b Zab 42:7Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja,

ne nzika, amayengo gonna,

ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta

ne bimbikka

ne binneetooloola.

42:4 Zab 31:22Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa

mu maaso go;

Ddala ndiddayo nate

okulaba yeekaalu yo entukuvu?’

52:5 Zab 69:1-2Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi;

Amazzi nga ganneetoolodde

era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.

6Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo,

ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe.

Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya,

Ayi Mukama Katonda wange.

72:7 a Zab 77:11-12 b 2By 30:27 c Zab 11:4; 18:6“Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika

ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda.

Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka

mu yeekaalu yo entukuvu.

82:8 2Bk 17:15; Yer 10:8“Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza,

beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!

92:9 a Zab 50:14, 23; Kos 14:2 b Mub 5:4-5 c Zab 3:8Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza,

ndikuwa ssaddaaka.

Ddala ndituukiriza obweyamo bwange

kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”

10Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.