Yokaana 7 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 7:1-53

Yesu ne Baganda be

17:1 a Yk 1:19 b Yk 5:18Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’alaga e Ggaliraaya, kubanga teyayagala kubeera mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta. 27:2 Lv 23:34; Ma 16:16Naye embaga y’Abayudaaya eyitibwa ey’Ensiisira yali eneetera okutuuka. 37:3 Mat 12:46Baganda ba Yesu ne bamugamba nti, “Vva wano, olage mu Buyudaaya, abayigirizwa bo balabe ebyamagero by’okola. 4Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi.” 57:5 Mak 3:21Baganda be nabo tebaamukkiriza. 67:6 Mat 26:18Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kyange eky’okugenda tekinnatuuka. Naye mmwe muyinza okugenda mu kiseera kyonna we mwagalira. 77:7 a Yk 15:18, 19 b Yk 3:19, 20Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye Nze enkyawa kubanga ngitegeeza ebikolwa byayo ebibi. 87:8 nny 6Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sijja kwambuka ku mbaga eno, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.” 9Bwe yamala okubagamba ebyo n’asigala mu Ggaliraaya.

Yesu ku Mbaga ey’Ensiisira

10Baganda be bwe bamala okwambuka ku mbaga naye n’ayambuka, mu kyama so si mu lwatu. 117:11 Yk 11:56Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga nga beebuuza nti, “Omusajja oli, ali ludda wa?”

127:12 nny 40, 43Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi mu bantu. Abamu ne bagamba nti, “Mulungi.” Naye abalala nga bagamba nti, “Nedda, alimba abantu.” 137:13 Yk 9:22; 12:42; 19:38Kyokka olw’okutya Abayudaaya, tewaaliwo amwogerako mu lwatu.

Yesu Ayigiriza ku Mbaga

147:14 nny 28; Mat 26:55Awo mu makkati g’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu n’ayigiriza. 157:15 a Yk 1:19 b Bik 26:24 c Mat 13:54Abakulembeze b’Abayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, “Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?”

167:16 Yk 3:11; 14:24Awo Yesu kwe kubaddamu nti, “Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula eby’oyo eyantuma. 177:17 Zab 25:14; Yk 8:43Buli ayagala okukola Katonda by’ayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda. 187:18 Yk 5:41; 8:50, 54Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyantuma wa mazima so n’obutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka? 197:19 a Yk 1:17 b nny 1; Mat 12:14Ku mmwe tekuliiko n’omu akwata mateeka. Kale lwaki musala amagezi okunzita?”

207:20 Yk 8:48; 10:20Ekibiina ky’abantu ne baddamu nti, “Oliko dayimooni! Ani asala amagezi okukutta?” 21Yesu n’addamu nti, “Nakola ekikolwa kimu ku Ssabbiiti buli muntu ne yeewuunya. 227:22 a Lv 12:3 b Lub 17:10-14Musa kyeyava abalagira okukomolebwa, okukomolebwa tekwatandikira ku Musa wabula kwatandikira ku bajjajjammwe; ne ku Ssabbiiti mukomola omuntu. 23Obanga mukomola ku Ssabbiiti etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, kale lwaki Nze munsunguwalira olw’okuwonya omuntu ku Ssabbiiti, n’aba mulamu ddala? 247:24 Is 11:3, 4; Yk 8:15Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw’ensonga.”

Yesu ye Kristo

25Awo abantu abamu ab’omu Yerusaalemi ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Ono si ye muntu gwe banoonya okutta? 267:26 nny 48Kale wuuno ayigiriza lwatu, ate tebaliiko kye bamugambako. Osanga abakulembeze bategedde nti omuntu ono ye Kristo! 277:27 Mat 13:55; Luk 4:22Naye tumanyi omuntu ono gy’ava; so nga Kristo bw’alijja tewaliba n’omu amanya gy’ava.”

287:28 a nny 14 b Yk 8:14 c Yk 8:26, 42Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi. 297:29 Mat 11:27Nze mmumanyi, kubanga nava gy’ali, era ye yantuma.”

307:30 nny 32, 44Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka. 317:31 a Yk 8:30 b Yk 2:11Naye bangi mu bibiina by’abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bw’alijja, alikola eby’amagero ebisinga eby’ono byakoze?”

32Awo Abafalisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuma abaweereza baabwe okumukwata. 337:33 a Yk 13:33; 16:16 b Yk 16:5, 10, 17, 28Awo Yesu n’agamba nti, “Nzija kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke nzireyo eri oyo eyantuma. 347:34 Yk 8:21; 13:33Mulinnoonya, naye temugenda kundaba, nga gye ndi, mmwe temuyinza kutuukayo.”

357:35 a Yak 1:1 b Yk 12:20; 1Pe 1:1Awo Abayudaaya ne beebuuzaganya nti, “Omuntu ono alaga wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani? 36Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘Mulinnoonya, naye temulindaba?’ Era nti, ‘Gye ndaga temuyinza kutuukayo?’ ”

Ensulo z’Amazzi amalamu

377:37 a Lv 23:36 b Is 55:1Awo ku lunaku olw’embaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu n’ayimirira n’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti, “Buli alina ennyonta, ajje gye ndi anywe! 387:38 a Is 58:11 b Yk 4:10 c Yk 4:14Ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti buli akkiriza Nze emigga egy’amazzi amalamu girikulukuta nga gifuluma mu mutima gwe!” 397:39 a Yo 2:28 b Yk 20:22 c Yk 12:23; 13:31, 32Yesu yali ayogera ku Mwoyo Mutukuvu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.

407:40 Mat 21:11; Yk 1:21Abantu abamu mu kibiina bwe baawulira ng’ayogera bw’atyo, ne bagamba nti, “Ddala omuntu ono ye Nnabbi.” 417:41 nny 52; Yk 1:46Abalala ne bagamba nti, “Omuntu ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo tayinza kuba ng’ava mu Ggaliraaya.” 427:42 a Mat 1:1 b Mi 5:2; Mat 2:5, 6Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti: Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era nga wa kuzaalibwa mu Besirekemu, ekibuga kya Dawudi mwe yali. 437:43 Yk 9:16; 10:19Awo ekibiina ne kyesalamu olwa Yesu. 447:44 nny 30Abamu ne baagala okumukwata, kyokka ne wabulawo amukwatako.

Obutakkiriza bw’Abakulembeze b’Abayudaaya

45Awo abaweereza b’abakabona abakulu n’Abafalisaayo ne baddayo eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo. Abakulembeze Ne bababuuza nti, “Lwaki temumuleese?” 467:46 Mat 7:28Abaweereza ne baddamu nti, “Ebigambo by’ayogera bya kitalo, tetubiwulirangako.” 477:47 nny 12Abafalisaayo ne babagamba nti, “Era nammwe abakyamizza? 487:48 Yk 12:42Waliwo n’omu ku bakulembeze wadde ku Bafalisaayo eyali akkiririzza mu muntu oyo? 49Naye ekibiina ky’abantu bano abatamanyi mateeka, bakolimiddwa!”

507:50 Yk 3:1; 19:39Awo Nikodemo, omu ku bo eddako eyagenda eri Yesu, n’abuuza nti, 51“Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tannaba kuwozesebwa okutegeera ky’akoze?” 527:52 nny 41Ne bamuddamu nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Nnoonyereza, ojja kulaba nti e Ggaliraaya teva nnabbi.”

53Awo ne baabuka, buli omu n’addayo eka.