Yokaana 6 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 6:1-71

Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ettaano

1Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’asomoka ennyanja ey’e Ggaliraaya, era eyitibwa ey’e Tiberiya. 26:2 Yk 2:11Ekibiina ky’abantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ng’awonya abalwadde. 36:3 nny 15Awo Yesu n’alinnya ku lusozi n’atuula wansi n’abayigirizwa be. 46:4 Yk 2:13; 11:55Embaga y’Abayudaaya eyitibwa Okuyitako yali eri kumpi okutuuka.

56:5 Yk 1:43Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?” 6Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola.

7Firipo n’amuddamu nti, “Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono.”

86:8 Yk 1:40Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti, 96:9 2Bk 4:43“Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?”

10Yesu n’abagamba nti, “Mutuuze abantu.” Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano. 116:11 nny 23; Mat 14:19Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta.

12Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa.” 13Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya.

146:14 a Yk 2:11 b Ma 18:15, 18; Mat 11:3; 21:11Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, “Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!” 156:15 a Yk 18:36 b Mat 14:23; Mak 6:46Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi.

Yesu Atambulira ku Mazzi

16Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ba Yesu ne baserengeta ku nnyanja 17ne basaabala mu lyato ne boolekera Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali. 18Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n’esiikuuka. 196:19 Yob 9:8Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya. 206:20 Mat 14:27Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!” 21Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.

Abantu Banoonya Yesu

226:22 a nny 2 b nny 15-21Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaasigala emitala w’eri, ne balabawo eryato limu lyokka, ne bamanya ng’abayigirizwa be baawunguka bokka mu lyato. 236:23 a nny 1 b nny 11Kyokka amaato ne gava e Tiberiya ne gagoba awo kumpi n’ekifo abantu we baaliira emigaati Yesu gye yabawa ng’amaze okwebaza. 24Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo wadde abayigirizwa be, ne bakwata amaato ne bawunguka ne batuuka e Kaperunawumu nga banoonya Yesu.

256:25 Mat 23:7Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?”

266:26 a nny 24 b nny 30; Yk 2:11Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 276:27 a Is 55:2 b nny 54; Mat 25:46; Yk 4:14 c Mat 8:20 d Bar 4:11; 1Ko 9:2; 2Ko 1:22; Bef 1:13; 4:30; 2Ti 2:19; Kub 7:3Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”

28Awo ne bamubuuza nti, “Tukole ki okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala?”

296:29 a 1Yk 3:23 b Yk 3:17Yesu n’abaddamu nti, “Katonda ky’ayagala mukole kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”

306:30 a Yk 2:11 b Mat 12:38Ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k’okola, tulabe tukukkirize? Onookola kabonero ki? 316:31 a Kbl 11:7-9 b Kuv 16:4, 15; Nek 9:15; Zab 78:24; 105:40Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’ ”

32Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu. 336:33 nny 50Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.”

346:34 Yk 4:15Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku.”

356:35 a nny 48, 51 b Yk 4:14Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta. 36Naye nabagamba nti mundabye naye era ne mutanzikiriza. 376:37 nny 39; Yk 17:2, 6, 9, 24Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru. 386:38 Yk 4:34; 5:30Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma ky’ayagala, so si Nze bye njagala ku bwange. 396:39 a Yk 10:28; 17:12 b nny 40, 44, 54Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero. 406:40 Yk 3:15, 16Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.”

Yesu y’Emmere ey’Obulamu

41Awo Abayudaaya ne batandika okwemulugunyiza Yesu, kubanga yabagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.” 426:42 a Luk 4:22 b Yk 7:27, 28 c nny 38, 62Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti, ‘Nava mu ggulu?’ ”

43Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya. 446:44 nny 65; Yer 31:3Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 456:45 Is 54:13Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi. 466:46 Yk 1:18; 5:37; 7:29Si kuba nti waliwo eyali alabye ku Kitange, wabula oyo eyava eri Katonda, ye yalaba Kitaawe. 47Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo! 486:48 nny 35, 51Nze mmere ey’obulamu. 496:49 nny 31, 58Bajjajjammwe baalya emaanu mu ddungu ne bafa. 506:50 nny 33Eno y’emmere eyava mu ggulu, buli agiryako aleme okufa. 516:51 Beb 10:10Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”

526:52 Yk 7:43; 9:16Awo Abayudaaya ne batandika okuwakana bokka na bokka nga bagamba nti, “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?”

536:53 Mat 8:20Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa n’omusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe. 546:54 nny 39Buli alya omubiri gwange n’anywa n’omusaayi gwange, ng’afunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 55Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala n’omusaayi gwange kye kyokunywa ddala. 566:56 Yk 15:4-7Oyo alya ku mubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye. 576:57 Yk 3:17Nga Kitange eyantuma bw’ali omulamu, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, noolwekyo oyo alya ku nze naye aliba mulamu ku bwange. 586:58 nny 49-51; Yk 3:36Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe.” 59Ebyo Yesu yabyogera ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Kaperunawumu.

Abayigirizwa Abamu Baleka Yesu

606:60 nny 66Abayigirizwa ba Yesu bangi bwe baabiwulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu okutegeera. Ani asobola okutunnyonnyola ky’agamba?” 616:61 Mat 11:6Awo Yesu bwe yategeera nga n’abayigirizwa be bakyemulugunyako, n’abagamba nti, “Ekyo kibeesittaza? 626:62 Mak 16:19; Yk 3:13; 17:5Kale mulirowooza ki bwe muliraba Omwana w’Omuntu ng’addayo gye yava? 636:63 2Ko 3:6Mwoyo Mutukuvu y’awa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu. 646:64 Yk 2:25Naye era abamu ku mmwe temukkiriza.” Kubanga okuva ku lubereberye Yesu yategeera abatamukkiriza era n’oyo agenda okumulyamu olukwe. 656:65 nny 37, 44Awo n’agamba nti, “Kyennava ŋŋamba nti tewali ayinza kujja gye ndi bw’atakiweebwa Kitange.”

666:66 nny 60Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako ne bataddayo kuyita naye.

676:67 Mat 10:2Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’ababuuza nti, “Nammwe mwagala kugenda?”

686:68 Mat 16:16Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo. 696:69 Mak 8:29; Luk 9:20Ffe tubikkiriza era tumanyi nti oli Mutukuvu wa Katonda.”

706:70 a Yk 15:16, 19 b Yk 13:27Awo Yesu kwe kubagamba nti, “Mmwe ekkumi n’ababiri si nze nabalonda? Naye omu ku mmwe Setaani!” 71Yesu yayogera ku Yuda, mutabani wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe.