Yokaana 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 2:1-25

12:1 a Yk 4:46; 21:2 b Mat 12:46Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo. 2Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa. 3Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Tebakyalina wayini.”

42:4 a Yk 19:26 b Mat 8:29 c Mat 26:18; Yk 7:6Yesu n’amuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”

52:5 Lub 41:55Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, “Kyonna ky’abagamba kye muba mukola.”

62:6 Mak 7:3, 4; Yk 3:25Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.

7Yesu n’agamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo. 8Awo n’abagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi.”

Ne basena ne bamutwalira. 92:9 Yk 4:46Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja 10n’amugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!”

112:11 a nny 23; Yk 3:2; 4:48; 6:2, 14, 26, 30; 12:37; 20:30 b Yk 1:14 c Kuv 14:31Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza. 122:12 a Mat 4:13 b Mat 12:46Embaga bwe yaggwa Yesu n’adda e Kaperunawumu n’abayigirizwa be n’amalayo ennaku ntono ng’ali eyo ne nnyina ne baganda be.

Yesu Alongoosa Yeekaalu

132:13 a Yk 11:55 b Ma 16:1-6; Luk 2:41Embaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako bwe yali eneetera okutuuka Yesu n’ayambuka e Yerusaalemi. 14N’asanga mu Yeekaalu abaali batunda ente n’endiga n’amayiba era n’abali bawaanyisa ensimbi. 15Awo Yesu n’addira emiguwa n’agifunyaafunya ne giba ng’embooko n’agobawo endiga n’ente, n’asaasaanya n’ensimbi ez’abaali bawaanyisa, n’avuunika n’emmeeza zaabwe. 162:16 Luk 2:49N’akyukira abaali batunda amayiba n’abagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale2:16 Yeekaalu ya Mukama yalina ekifo Bannaggwanga we baakuŋŋaaniranga ne basinza, nga bazze mu Yeekaalu. Kyokka bakabona baali bakifuusizaamu akatale abaawangayo Ssaddaaka we baggyanga eby’okuwaayo ku lunaku lwa Ssabbiiti..” 172:17 Zab 69:9Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bw’Ennyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.”

182:18 Mat 12:38Awo Abayudaaya ne bamubuuza nti, “Kabonero ki k’otulaga nti olina obuyinza okukola bino?”

192:19 Mat 26:61; 27:40; Mak 14:58; 15:29Yesu kwe kuddamu nti, “Mumenyeewo Yeekaalu eno ngizzeewo mu nnaku ssatu.”

20Ne bamuddamu nti, “Kiki ky’otegeeza? Yeekaalu eno yatwalira ddala emyaka amakumi ana mu mukaaga okuzimba oyinza otya okugizimbira ennaku essatu?” 212:21 1Ko 6:19Kyokka Yeekaalu gye yali ayogerako gwe mubiri gwe. 222:22 Luk 24:5-8; Yk 12:16; 14:26Yesu bwe yamala okuzuukira abayigirizwa ne bajjukira nti kino kye yali ayogerako. Ne bakkiriza ebyawandiikibwa n’ebigambo Yesu bye yayogerako.

232:23 nny 13Awo Yesu bwe yali mu Yerusaalemi mu kiseera eky’Embaga ey’Okuyitako, bangi baalaba obubonero bwe yali akola ne bakkiriza erinnya lye. 24Kyokka Yesu teyabeesiga, kubanga amanyi abantu bonna, 252:25 Mat 9:4; Yk 6:61, 64; 13:11kubanga yamanya bw’afaanana, nga teyeetaaga kubuulirwa muntu kyali.