Yokaana 19 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 19:1-42

Yesu Asalirwa ogw’Okufa

119:1 Ma 25:3; Is 50:6; 53:5; Mat 27:26Awo Piraato n’atwala Yesu n’amukuba embooko. 2Abaserikale ne bakola engule ey’amaggwa ne bagissa ku mutwe gwa Yesu, ne bamwambaza olugoye olwa kakobe, 319:3 a Mat 27:29 b Yk 18:22ne bajja w’ali ne bamugamba nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!” Ne bamukuba empi.

419:4 a Yk 18:38 b nny 6; Luk 23:4Piraato n’afuluma ebweru nate, n’agamba Abayudaaya nti, “Laba, mbaleetera Yesu ebweru, kyokka mutegeere nga nze ndaba taliiko musango.” 519:5 nny 2Awo Yesu n’afuluma ng’atikkiddwa engule eyakolebwa mu maggwa, era ng’ayambaziddwa olugoye olw’effulungu, Piraato n’agamba Abayudaaya nti, “Mulabe omuntu oyo!”

619:6 a Bik 3:13 b nny 4; Luk 23:4Awo bakabona abakulu n’abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti, “Mukomerere, mukomerere!”

Piraato n’abagamba nti, “Mmwe mumutwale mumukomerere. Nze simulabako musango.”

719:7 a Lv 24:16 b Mat 26:63-66; Yk 5:18; 10:33Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo asaanidde kuttibwa, kubanga yeeyita Omwana wa Katonda.”

8Piraato bwe yawulira ekyo ne yeeyongera okutya. 919:9 a Yk 18:33 b Mak 14:61N’azzaayo Yesu mu lubiri, n’amubuuza nti, “Oli wa wa?” Yesu n’atamuddamu kigambo. 10Piraato n’amugamba nti, “Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta oba okukukomerera?”

1119:11 a Bar 13:1 b Yk 18:28-30; Bik 3:13Yesu n’amuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza ku Nze n’akatono, singa tebukuweebwa kuva waggulu. Noolwekyo abo abampaddeyo gy’oli be balina ekibi ekisinga.”

1219:12 Luk 23:2Okuva mu kiseera ekyo Piraato n’asala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Bw’ota omuntu oyo nga tokyali mukwano gwa Kayisaali. Buli eyeefuula kabaka aba awakanya Kayisaali.” 1319:13 a Mat 27:19 b Yk 5:2Bwe baayogera batyo Piraato n’azza Yesu ebweru gye bali, n’atuula ku ntebe esalirwako emisango, mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, mu Lwebbulaniya Gabbasa. 1419:14 a Mat 27:62 b Mak 15:25 c nny 19, 21Lwali lunaku lwa kutegeka Mbaga ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ez’omu ttuntu.

Piraato n’agamba Abayudaaya nti, “Kabaka wammwe wuuno!”

15Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Mukomerere, mukomerere!”

Piraato n’ababuuza nti, “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera?”

Bakabona abakulu ne baddamu nti, “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaali.”

1619:16 Mat 27:26; Mak 15:15; Luk 23:25Piraato n’abawa Yesu okumukomerera.

Awo ne batwala Yesu; 1719:17 a Lub 22:6; Luk 14:27; 23:26 b Luk 23:33 c Yk 5:2n’afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, n’atuuka mu kifo ekiyitibwa eky’Ekiwanga, mu Lwebbulaniya kiyitibwa Gologoosa. 1819:18 Luk 23:32Ne bamukomerera ku musaalaba mu kifo ekyo. Era ne bakomerera n’abalala babiri, omu eruuyi n’omulala eruuyi, Yesu n’abeera wakati waabwe.

1919:19 a Mak 1:24 b nny 14, 21Piraato n’akola ekiwandiiko n’akiteeka ku musaalaba, nga kisoma nti:

“Yesu Omunnazaaleesi, Kabaka w’Abayudaaya.”

2019:20 Beb 13:12Ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n’ekibuga, era Abayudaaya bangi abaasoma ekiwandiiko ekyo kubanga kyali mu Lwebbulaniya, ne mu Lulatini ne Luyonaani. 2119:21 nny 14Awo bakabona abakulu ab’Abayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti, ‘Kabaka w’Abayudaaya,’ naye nti, ‘Oyo eyeeyita Kabaka w’Abayudaaya.’ ”

22Piraato n’addamu nti, “Ekyo kye mpandiise kye mpandiise.”

23Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne baddira engoye ze ne baziteeka emiteeko ena. Buli muserikale n’afuna omuteeko gumu. Ne baddira ekkanzu ye, eyali erukiddwa obulukibwa yonna, 2419:24 a nny 28, 36, 37; Mat 1:22 b Zab 22:18abaserikale ne bagambagana nti, “Tuleme kugiyuzaamu naye tugikubire kalulu, tulabe anaagitwala.”

Kino kyabaawo okutuukiriza ekyawandiikibwa ekigamba nti:

“Baagabana ebyambalo byange,

n’ekkanzu yange ne bagikubira akalulu.”

Ekyo kyennyini abaserikale kye baakolera ddala.

2519:25 a Mat 27:55, 56; Mak 15:40, 41; Luk 23:49 b Mat 12:46 c Luk 24:18Okumpi n’omusaalaba gwa Yesu waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, ne Maliyamu muka Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleene. 2619:26 a Mat 12:46 b Yk 13:23Yesu bwe yalaba nnyina, era n’omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ng’ayimiridde awo, n’agamba nnyina nti, “Maama, laba omwana wo.” 27Ate n’agamba omuyigirizwa nti, “Laba maama wo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo n’atwala nnyina Yesu eka ewuwe.

Okufa kwa Yesu

2819:28 a nny 30; Yk 13:1 b Yk 13:24, 36, 37Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, n’ayogera nti, “Ennyonta ennuma.” 2919:29 Zab 69:21Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde wayini omukaatuufu, ne bannyikamu ekyangwe, ne bakiteeka ku kati ka ezobu ne bakiteeka ku mumwa gwa Yesu. 3019:30 Luk 12:50; Yk 17:4Bwe yakombako n’agamba nti, “Kiwedde.” N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.

3119:31 a nny 14, 42 b Ma 21:23; Yos 8:29; 10:26, 27Olunaku nga bwe lwali olw’okweteekerateekera Ssabbiiti eyo enkulu ennyo, abakulembeze b’Abayudaaya ne batayagala mirambo kusigala ku misaalaba. Kyebaava basaba Piraato abaakomererwa bamenyebwe amagulu era bawanulweyo. 3219:32 nny 18Awo abaserikale ne bajja ne bamenya amagulu g’abasajja abaakomererwa ne Yesu. 33Naye bwe batuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu. 3419:34 a Zek 12:10 b 1Yk 5:6, 8Naye omu ku baserikale n’amufumita effumu mu mbiriizi, amangwago ne muvaamu omusaayi n’amazzi. 3519:35 a Luk 24:48 b Yk 15:27; 21:24Oyo eyakirabira ddala nga kibaawo ye yakyogera, era kye yayogera kya mazima, era oyo amanyi ng’ayogera mazima mulyoke mukkirize. 3619:36 a nny 24, 28, 37; Mat 1:22 b Kuv 12:46; Kbl 9:12; Zab 34:20Bino byabaawo ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti: “Talimenyebwa gumba na limu.” 3719:37 Zek 12:10; Kub 1:7Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba oyo gwe baafumita.”

Okuziikibwa kwa Yesu

38Ebyo bwe byaggwa, Yusufu ow’e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu mu kyama olw’okutya Abayudaaya, n’asaba Piraato olukusa okuwanulayo omulambo gwa Yesu, Piraato n’amukkiriza. Yusufu n’aguwanulayo n’agutwala. 3919:39 Yk 3:1; 7:50Nikodemo, eddako eyagenda eri Yesu ekiro, naye n’ajja ng’aleese kilo ng’amakumi ataano ez’ebyakoloosa ebitabule n’envumbo. 4019:40 a Luk 24:12; Yk 11:44; 20:5, 7 b Mat 26:12Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye eza linena wamu n’ebyakaloosa ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bwe yali. 41Mu kifo Yesu we yakomererwa waaliwo ennimiro omwali entaana empya ey’empuku, eyali teziikibwangamu muntu. 4219:42 a nny 14, 31 b nny 20, 41Nga bwe lwali olunaku lw’Abayudaaya olw’okweteekerateekera Ssabbiiti ate ng’entaana eno eri kumpi, Yesu ne bamussa omwo.