Yokaana 13 – LCB & SNC

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 13:1-38

Yesu Anaaza Abayigirizwa be Ebigere

113:1 a Yk 11:55 b Yk 12:23 c Yk 16:28Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.

2Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe. 313:3 a Mat 28:18 b Yk 8:42; 16:27, 28, 30Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gy’adda, 4n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato, 513:5 Luk 7:44n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.

6Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”

713:7 nny 12Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”

8Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”

9Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza n’emikono n’omutwe.”

1013:10 Yk 15:3Yesu n’amuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.” 11Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”

12Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde? 1313:13 a Yk 11:28 b Luk 6:46; 1Ko 12:3; Baf 2:11Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi. 1413:14 1Pe 5:5Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere. 1513:15 Mat 11:29Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze. 1613:16 Mat 10:24; Luk 6:40; Yk 15:20Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era n’oyo atumibwa tasinga oli amutumye. 1713:17 Mat 7:24, 25; Luk 11:28; Yak 1:25Bwe mumanya ebintu bino muba n’omukisa bwe mubikola. 1813:18 a nny 10 b Yk 15:16, 19 c Mat 26:23 d Yk 6:70 e Zab 41:9Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’ 1913:19 a Yk 14:29; 16:4 b Yk 8:24Kino nkibategeeza okuva kaakano, nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo mulyoke munzikirize. 2013:20 Mat 10:40; Luk 10:16Ddala ddala mbagamba nti buli asembeza gwe ntuma, ng’asembezezza Nze, era asembeza Nze ng’asembezezza oyo eyantuma.”

2113:21 a Yk 12:27 b Mat 26:21Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’alumwa nnyo mu mwoyo, n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe.”

22Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyidde ddala gw’ayogerako. 2313:23 Yk 19:26; 20:2; 21:7, 20Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi n’ekifuba kya Yesu, 24Simooni Peetero n’amutemyako ng’amugamba nti, “Mutubuulize gw’ayogerako.”

2513:25 Yk 21:20Kale bwe yaddayo okugalamira ng’aliraanye ekifuba kya Yesu, n’amubuuza nti, “Mukama waffe, gw’oyogerako ye ani?” 26Yesu n’addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo n’akwata ekitole, n’akikoza n’akiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni. 2713:27 Luk 22:3Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani n’amuyingiramu.

Awo Yesu n’amugamba nti, “Ky’okola kikole mangu!” 28Ku baali balya tewaali n’omu eyategeera kyeyava amugamba bw’atyo. 2913:29 Yk 12:6Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti abeeko by’agabira abaavu. 3013:30 Luk 22:53Yuda olwafuna ekitole, amangwago n’afuluma ebweru; obudde bwali kiro.

3113:31 a Yk 7:39 b Yk 14:13; 17:4; 1Pe 4:11Yuda olwafuluma, Yesu n’agamba nti, “Kaakano Omwana w’Omuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye. 3213:32 Yk 17:1Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.

3313:33 Yk 7:33, 34“Baana bange, akaseera katono ke nkyali nammwe. Mulinnoonya era nga bwe nagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.

3413:34 a 1Yk 2:7-11; 3:11 b Lv 19:18; 1Bs 4:9; 1Pe 1:22 c Yk 15:12; Bef 5:2; 1Yk 4:10, 11“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. 3513:35 1Yk 3:14; 4:20Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”

3613:36 a nny 33; Yk 14:2 b Yk 21:18, 19; 2Pe 1:14Awo Simooni Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe olaga wa?”

Yesu n’amuddamu nti, “Tosobola kugenda nange kaakano, wabula olingoberera oluvannyuma.”

37Peetero n’amubuuza nti, “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”

3813:38 Yk 18:27Yesu n’amuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”

Slovo na cestu

Jan 13:1-38

Ježíš umývá učedníkům nohy

1Ježíš věděl, že nastávající Velikonoce jsou posledními dny jeho života na zemi, než se vrátí k Otci. Miloval ty, mezi nimiž žil, a prokazoval jim lásku až do konce. 2V předvečer svátků večeřel Ježíš společně se svými učedníky. To už Jidáš pojal ďábelský záměr zradit svého Mistra. 3Ježíš si byl vědom velikosti svého poslání a moci jako ten, kdo byl a bude rovný Bohu. Když viděl, že se nikdo z učedníků nechtěl snížit k službě, kterou obvykle konali otroci, vstal od stolu, 4odložil svrchní oděv a opásal se ručníkem. 5Nalil vodu do umývadla a začal učedníkům umývat a utírat zaprášené nohy. 6Když došlo na Petra, ten se začal bránit: „Pane, ty mi přece nebudeš mýt nohy!“

7Ježíš odpověděl: „Jestliže tě neočistím, ztratíš se mnou spojení a odcizíš se mi.“

8-9A tak Petr najednou obrátil: „Když je to tak, Pane, umyj mne celého.“

10-11Ježíš mu na to řekl: „Koho Bůh už jednou očistil, ten se potřebuje zbavovat jen každodenní špíny a vy jste čistí, ale ne všichni.“ Tím myslel na svého zrádce.

12Když umyl nohy poslednímu, oblékl se, vrátil se ke stolu a zeptal se jich: „Pochopili jste, proč jsem to udělal? 13-14Jestliže jsem vám umyl nohy já, váš Pán a Mistr, i vy si máte navzájem sloužit v pokorné lásce. 15Dal jsem vám příklad. A vy se jím řiďte a jednejte jako já. 16Je nepochybné, že sluha není větší než jeho pán a vyslanec není významnější než hlava státu. 17Tak teď to víte, a když se podle toho budete řídit, přinese vám to radost.

18-20Na jedno se můžete spolehnout: kdo přijímá moje posly, přijímá mne, a tím i Otce.

To, co jsem řekl, netýká se všech. Vím, koho jsem vyvolil. Plní se výrok Písma: ‚Ten, kdo se mnou jídal, podrazil mi nohy.‘ Až se to stane, pochopíte, že to byla řeč o mně a mém zrádci.“

Ježíš naposledy večeří s učedníky

21Když to Ježíš řekl, teprve to na něj v plné síle dolehlo a dodal otevřeně: „Je to tak, jeden z vás mne zradí.“ 22Učedníci se tázavě dívali jeden na druhého, o kom to vlastně mluví. 23-25Petr se naklonil k učedníkovi, který byl u stolu Ježíšovi nejblíže, a naznačil mu, aby se zeptal. Ten se obrátil k Mistrovi: „Pane, kdo to je?“

26„Ten, kterému podám chléb,“ odpověděl Ježíš. Namočil kousek chleba do omáčky a podával ho Jidášovi.

27V tu chvíli naplnil Jidáše hněv. Ježíš mu řekl: „Neotálej a proveď rychle, co chceš.“ 28Učedníci nechápali, o čem je řeč. Někteří si dokonce mysleli, že Jidáš má nakoupit nějaké jídlo na svátky nebo že má rozdat peníze chudým; 29byl totiž jejich pokladníkem. 30Jidáš přijal podávaný chléb, zvedl se a odešel. Byla noc.

Ježíš předpovídá Petrovo zapření

31-33Po Jidášově odchodu Ježíš řekl: „Je rozhodnuto, půjdu poslušně cestou, která se líbí Bohu, cestou Božího vítězství. Moji milí, už s vámi dlouho nebudu. Marně mne budete hledat. Na mojí cestě mne nemůžete doprovodit. 34Odkazuji vám, abyste se navzájem milovali, jako jsem já miloval vás. 35Vaše vzájemná láska dokáže světu, že jste mými žáky.“

36„Mistře, kam chceš odejít?“ zeptal se Petr.

„Teď se mnou nemůžeš jít,“ odpověděl mu Ježíš, „budeš mne následovat později.“

37„Proč s tebou nemohu jít už teď?“ ptal se znovu Petr. „Jsem ochoten dát za tebe život!“

38„Život za mne chceš dát?“ zeptal se Ježíš. „Uvidíš, že mne třikrát zapřeš, než ráno zakokrhá kohout.“