Yokaana 11 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 11:1-57

Okufa kwa Laazaalo

111:1 a Mat 21:17 b Luk 10:38Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali. 211:2 Mak 14:3; Luk 7:38Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze. 311:3 nny 5, 36Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, “Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo.”

411:4 nny 40; Yk 9:3Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, “Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa.” 5Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde n’ayongera n’asigala we yali 6n’amalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali. 711:7 Yk 10:40Awo ennaku bbiri bwe zaayitawo n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuddeyo e Buyudaaya.”

811:8 a Mat 23:7 b Yk 8:59; 10:31Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, “Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?”

911:9 Yk 9:4; 12:35Yesu n’abaddamu nti, “Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba. 10Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.”

1111:11 a nny 3 b Bik 7:60Bwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti, “Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa.”

12Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka.” 1311:13 Mat 9:24Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.

14Awo n’alyoka abategeereza ddala nti, “Laazaalo afudde. 15Naye ku lw’obulungi bwammwe, nsanyuse kubanga ssaaliyo, mulyoke mukkirize; kale mujje tugende gy’ali.”

1611:16 Mat 10:3; Yk 14:5; 20:24-28; 21:2; Bik 1:13Awo Tomasi eyayitibwanga Didumo11:16 Didumo okutegeeza nti mulongo n’agamba banne nti, “Ka tugende tufiire wamu naye.”

1711:17 nny 6, 39Bwe baatuuka e Besaniya Yesu n’asanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana. 1811:18 nny 1Besaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu. 1911:19 nny 31; Yob 2:11Abayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olw’okufiirwa mwannyinaabwe. 2011:20 Luk 10:38-42Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu n’asigala mu nnyumba ng’atudde. 2111:21 nny 32, 37Awo Maliza n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. 2211:22 nny 41, 42; Yk 9:31Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa.”

23Yesu n’agamba Maliza nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira.”

2411:24 Dan 12:2; Yk 5:28, 29; Bik 24:15Maliza n’amuddamu nti, “Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero.”

2511:25 Yk 1:4Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, 26na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?”

2711:27 a Luk 2:11 b Mat 16:16 c Yk 6:14Maliza n’amugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”

2811:28 Mat 26:18; Yk 13:13Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.” 29Maliyamu olwawulira ekyo n’asitukiramu n’agenda eri Yesu. 3011:30 nny 20Yesu yali akyali mu kifo Maliza we yamusisinkana nga tannatuuka mu kibuga. 3111:31 nny 19Abayudaaya abaali bazze okukubagiza abaali mu nnyumba ne Maliyamu bwe baamulaba ng’ayimiridde mangu ng’afuluma ne bamugoberera ne balowooza nti agenda ku ntaana akaabire eyo.

3211:32 nny 21Maliyamu bwe yatuuka awali Yesu n’afukamira ku bigere bye, nga bw’agamba nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”

3311:33 a nny 38 b Yk 12:27Yesu bwe yamulaba ng’akaaba era n’Abayudaaya abaali naye nga bakaaba n’anyolwa mu mutima, n’ajjula obuyinike. 34N’abuuza nti, “Mwamuteeka wa?”

Ne bamugamba nti, “Mukama waffe jjangu olabeyo.”

3511:35 Luk 19:41Yesu n’akaaba amaziga.

3611:36 nny 3Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Ng’abadde amwagala nnyo!”

3711:37 a Yk 9:6, 7 b nny 21, 32Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, lwaki teyaziyiza musajja ono kufa?”

Yesu Azuukiza Laazaalo

3811:38 a nny 33 b Mat 27:60; Luk 24:2; Yk 20:1Awo Yesu ne yeeyongera okujjula obuyinike. N’atuuka ku ntaana. Yali mpuku ng’eggaliddwawo n’ejjinja. 3911:39 nny 17Yesu n’agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.”

Naye Maliza, mwannyina w’omufu, n’amugamba nti, “Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.”

4011:40 a nny 23-25 b nny 4Yesu n’amuddamu nti, “Saakugambye nti bw’onokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”

4111:41 a Yk 17:1 b Mat 11:25Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu n’atunula waggulu n’agamba nti, “Kitange nkwebaza olw’okumpulira. 4211:42 a Yk 12:30 b Yk 3:17Mmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olw’abantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti ggwe wantuma.”

4311:43 Luk 7:14Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Laazaalo fuluma.” 4411:44 a Yk 19:40 b Yk 20:7Awo Laazaalo n’ava mu ntaana, ng’amagulu ge n’emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n’ekiremba kisibiddwa ku maaso ge.

Yesu n’abagamba nti, “Mumusumulule atambule.”

4511:45 a nny 19 b Yk 2:23 c Kuv 14:31; Yk 7:31Bangi ku Bayudaaya abajja ne Maliyamu bwe baalaba Yesu ky’akoze ne bamukkiriza. 46Naye abalala ne bagenda eri Abafalisaayo ne babategeeza Yesu kye yakola.

4711:47 a nny 57 b Mat 26:3 c Mat 5:22 d Yk 2:11Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuuza olukiiko ne bagamba nti, “Tukole ki? Kubanga omuntu ono akola ebyamagero bingi. 48Bwe tumuleka bw’atyo, abantu bonna bajja kumukkiriza bamugoberere, n’ekirivaamu Abaruumi bagenda kujja bazikirize ekifo ekitukuvu n’eggwanga lyaffe.”

4911:49 a Mat 26:3 b nny 51; Yk 18:13, 14Awo omu ku bo, Kayaafa eyali Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo, n’abagamba nti, “Mmwe temuliiko kye mumanyi. 5011:50 Yk 18:14Temulaba nti kirungi omuntu omu afe, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?”

51Ekyo Kayaafa teyakyogera ku bubwe, wabula ye nga Kabona Asinga Obukulu, yayogera eby’obunnabbi nti Yesu yali anaatera okufiirira eggwanga, 5211:52 Is 49:6; Yk 10:16ate si ggwanga lyokka naye n’okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana. 5311:53 Mat 12:14Okuva ku lunaku olwo abakulembeze b’Abayudaaya ne basala amagezi okutta Yesu.

5411:54 Yk 7:1Noolwekyo, Yesu n’alekayo okutambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n’avaayo n’alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu, n’abeera eyo n’abayigirizwa be.

5511:55 a Kuv 12:13, 23, 27; Mat 26:1, 2; Mak 14:1; Yk 13:1 b 2By 30:17, 18Embaga y’Abayudaaya ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo ne bambuka e Yerusaalemi okukola omukolo ogw’okwetukuza ng’embaga tennatuuka. 5611:56 Yk 7:11Bwe baali bakuŋŋaanidde mu Yeekaalu, ne banoonya Yesu, ne beebuuzaganya nti, “Mulowooza mutya? Yesu tajje ku mbaga?” 57Bakabona abakulu n’Abafalisaayo baali balagidde nti, Omuntu yenna bw’amanya Yesu wali abategeeze, balyoke bamukwate.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約翰福音 11:1-57

拉撒路病死

1伯大尼村有個名叫拉撒路的人病倒了。伯大尼瑪麗亞和她姐姐瑪大居住的村莊。 2就是這個瑪麗亞後來用香膏抹主,又用自己的頭髮擦乾祂的腳,患病的拉撒路是她的弟弟。 3她們姊妹兩個託人去告訴耶穌,說:「主啊,你所愛的人病了!」

4耶穌聽見後,說:「這病不會致命,而是為了上帝的榮耀,使祂的兒子藉此得到榮耀。」 5耶穌一向愛瑪大瑪麗亞拉撒路6可是祂聽到拉撒路有病的消息後,仍逗留了兩天, 7然後才對門徒說:「我們去猶太吧!」

8門徒說:「老師,猶太人近來想拿石頭打你,你還要去那裡嗎?」

9耶穌說:「白天不是有十二個小時嗎?人在白天走路,不會跌倒,因為他看得見這世上的光。 10人在夜間走路,才會跌倒,因為沒有光。」 11接著耶穌又說:「我們的朋友拉撒路已經睡了,我去叫醒他。」

12門徒說:「主啊,如果他睡了,肯定會好的。」 13其實耶穌是指他已經死了,門徒卻以為他真的睡了。

14於是,耶穌清楚地對他們說:「拉撒路死了。 15為了你們的緣故,我很高興自己不在那裡,好叫你們信我。現在我們可以去了。」 16綽號「雙胞胎」的多馬對其他門徒說:「我們也去,好跟祂一塊兒死吧。」

拉撒路死而復活

17耶穌到了伯大尼,得知拉撒路已經在墳墓裡四天了。 18伯大尼耶路撒冷不遠,大約只有三公里的路, 19很多猶太人來看瑪大瑪麗亞,為她們兄弟的事來安慰她們。

20瑪大聽說耶穌來了,就去迎接祂,瑪麗亞卻仍然坐在家裡。 21瑪大對耶穌說:「主啊,你如果早在這裡,我弟弟就不會死了。 22就是現在我也知道你無論向上帝求什麼,上帝必定賜給你。」

23耶穌說:「你弟弟必定復活。」

24瑪大說:「我知道,在末日復活的時候,他必復活。」

25耶穌說:「我是復活,我是生命。信我的人雖然死了,也必復活。 26凡活著信我的人必永遠不死。你相信嗎?」

27瑪大說:「主啊,我信!我相信你是來到世界的基督,是上帝的兒子。」

28瑪大說完了,就回去悄悄地告訴她妹妹瑪麗亞:「老師來了,祂叫你去。」

29瑪麗亞聽了,急忙起來到耶穌那裡。 30那時,耶穌還沒有進村子,仍在瑪大迎接祂的地方。 31那些在家裡安慰瑪麗亞猶太人,見她匆匆忙忙地跑了出去,以為她要去墳墓那裡哭,就跟著出去。

32瑪麗亞來到耶穌那裡,俯伏在祂腳前說:「主啊,你如果早在這裡,我弟弟就不會死了。」

33耶穌看見她和陪她來的猶太人都在哭,心中感動,十分難過, 34便問:「你們把他葬在哪裡了?」

他們答道:「主啊,你來看。」

35耶穌哭了。

36猶太人說:「你看!祂多麼愛拉撒路啊!」

37其中也有人說:「祂既然能醫好瞎眼的人,難道不能叫這個人不死嗎?」

38耶穌又十分感動地來到墳墓前。那墳墓是個洞,洞口堵著一塊大石頭。

39耶穌說:「把石頭挪開。」

死者的姐姐瑪大對祂說:「主啊,他死了四天了,已經臭了。」

40耶穌說:「我不是跟你說過,只要你信,就會看見上帝的榮耀嗎?」

41於是,他們把石頭挪開,耶穌望著天說:「父啊,我感謝你,因為你已垂聽了我的禱告, 42我知道你常常垂聽我的禱告。我這樣說是為了周圍站著的眾人,好叫他們相信是你差了我來。」

43說完,就大聲呼喊:「拉撒路,出來!」 44那死者就出來了,手腳都纏著布條,臉上也包著布。

耶穌對他們說:「給他解開,讓他走!」

謀害耶穌

45許多來看瑪麗亞猶太人看見耶穌所行的事,就信了祂, 46但也有些人去見法利賽人,把耶穌所行的事告訴他們。 47祭司長和法利賽人便召開公會會議,說:「這人行了這麼多神蹟,我們該怎麼辦呢? 48如果讓祂這樣繼續下去,所有的人都會信祂,那時羅馬人一定會來奪取我們的土地,擄掠我們的人民。」

49當年擔任大祭司的該亞法對他們說:「你們什麼都不懂! 50你們沒有認識到,祂一個人替眾人死,而不是整個民族滅亡,對你們來說更好。」 51其實這句話不是出於他自己,只因那年他是大祭司,上帝藉著他預言耶穌將要替猶太民族死。 52祂不單是要替猶太民族死,也要把散居在各處的上帝的兒女聚集在一起。

53從那天起,他們就計劃要殺害耶穌, 54所以耶穌不再公開地在猶太人中間露面。祂離開伯大尼,前往靠近曠野的地方,到了以法蓮城,就和門徒住下來。

55猶太人的逾越節快到了,有很多人從鄉下上耶路撒冷,預備在過節前潔淨自己。 56他們四處尋找耶穌,又彼此在聖殿裡談論:「你們怎麼想?祂不會來過節吧?」 57當時祭司長和法利賽人早已下令,如果有人知道耶穌在哪裡,就來報告,他們好去抓祂。