Yokaana 10 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 10:1-42

Omusumba Omulungi

1“Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi. 210:2 nny 11, 14Naye ayingirira mu mulyango, ye musumba w’endiga. 310:3 nny 4, 5, 14, 16, 27Era oyo omuggazi amuggulirawo, n’endiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo n’azifulumya ebweru. 4Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye. 5Omulala gwe zitamanyi, tezimugoberera, zimudduka buddusi kubanga tezimanyi ddoboozi lye.” 610:6 Yk 16:25Yesu n’abagerera olugero olwo, kyokka bo, ebyo tebaabitegeera.

7Awo Yesu kyeyava ayongera n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nze mulyango gw’endiga. 810:8 Yer 23:1, 2Abalala bonna abansooka baali babbi era banyazi, n’endiga tezaabawuliriza. 9Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro. 10Omubbi ky’ajjirira kwe kubba n’okutta n’okuzikiriza. Nze najja, zibe n’obulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu.

1110:11 a nny 14; Is 40:11 b Yk 15:13; 1Yk 3:16“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga. 1210:12 Zek 11:16, 17Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya. 13Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.

1410:14 a nny 11 b nny 27“Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi. 1510:15 Mat 11:27Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga. 1610:16 a Is 56:8 b Yk 11:52 c Ez 37:24Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu. 1710:17 nny 11, 15, 18Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. 1810:18 a Mat 26:53 b Yk 15:10; Baf 2:8Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”

1910:19 Yk 7:43; 9:16Yesu bwe yayogera bw’atyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto. 2010:20 a Yk 7:20 b Mak 3:21Bangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”

2110:21 a Mat 4:24 b Kuv 4:11; Yk 9:32, 33Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”

Obutakkiriza bw’Abayudaaya

22Mu Yerusaalemi mwalimu embaga ey’Okutukuza, era bwali budde bwa butiti. 2310:23 Bik 3:11; 5:12Yesu yali mu Yeekaalu ng’atambula mu kifo ekiyitibwa Ekisasi kya Sulemaani. 2410:24 a Yk 1:19 b Yk 16:25, 29Awo Abayudaaya ne bamwetooloola ne bamugamba nti, “Olituusa ddi okutubuusisabuusisa? Obanga ggwe Kristo kale tubuulirire ddala.”

2510:25 a Yk 8:58 b Yk 5:36Yesu n’addamu nti, “Nababuulira dda naye temukkiriza. Ekikakasa ebyo gy’emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange. 2610:26 Yk 8:47Naye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. 2710:27 a nny 14 b nny 4Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera. 2810:28 Yk 6:39Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, 2910:29 a Yk 17:2, 6, 24 b Yk 14:28kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange. 3010:30 Yk 17:21-23Nze ne Kitange tuli omu.”

3110:31 Yk 8:59Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okumukuba. 32Yesu n’abagamba nti, “Mwalaba ebyamagero bingi Kitange bye yankozesa, kiruwa ku ebyo kye musinziirako okunkuba amayinja?”

3310:33 Lv 24:16; Yk 5:18Ne bamuddamu nti, “Tetukuvunaana lwa birungi by’okola wabula lwa kubanga ovvoola; ggwe oli muntu buntu naye weeyita Katonda.”

3410:34 a Yk 8:17; Bar 3:19 b Zab 82:6Yesu n’abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti, Katonda yagamba nti, ‘Muli bakatonda’? 35Obanga abo abaweebwa ekigambo kya Katonda, yabayita bakatonda, ate ng’Ebyawandiikibwa tebidiba, 3610:36 a Yer 1:5 b Yk 6:69 c Yk 3:17 d Yk 5:17, 18ate Nze, Kitange gwe yatukuza n’antuma mu nsi, lwaki mugamba nti avvoola kubanga ŋŋambye nti, Ndi Mwana wa Katonda? 3710:37 nny 25; Yk 15:24Obanga sikola ebyo Kitange by’ayagala nkole, kale temunzikiriza; 3810:38 Yk 14:10, 11, 20naye obanga nkola by’ayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.” 3910:39 a Yk 7:30 b Luk 4:30Awo ne bagezaako nate okumukwata, kyokka ne yeemulula.

4010:40 Yk 1:28N’addayo emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yasooka okubatiriza, n’abeera eyo. 4110:41 a Yk 2:11; 3:30 b Yk 1:26, 27, 30, 34Abantu bangi ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Yokaana teyakola byamagero, naye buli kimu kye yayogera ku muntu ono kyali kya mazima.” 4210:42 Yk 7:31Bangi ne bamukkiririza eyo.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约翰福音 10:1-42

好牧人

1耶稣说:“我实实在在地告诉你们,不从门进羊圈而从别处爬进去的人就是贼,是强盗。 2从门进去的才是羊的牧人, 3看门的会给他开门,羊也听他的声音。他按名字叫自己的羊,把它们领出来。 4领出来之后,自己便走在前面,羊群也跟着他,因为羊认得他的声音。 5羊从不跟随陌生人,见了陌生人就逃跑,因为它们不认得陌生人的声音。”

6耶稣讲了这个比喻,但听的人都不明白祂的意思。 7于是祂又说:“我实实在在地告诉你们,我就是羊的门。 8在我以前来的,都是贼,是强盗,羊不听从他们。 9我就是门,从我进来的必定得救,并且会安然出入,找到草吃。 10盗贼来,无非是要偷窃、杀害、毁坏。但我来是要羊得生命,并且得到丰盛的生命。

11“我是好牧人,好牧人为羊舍命。 12如果是雇工,不是牧人,羊也不是他的,狼一来,他必撇下羊逃命。狼就会抓住羊,把羊群驱散。 13他逃走,因为他是雇工,并不在乎羊。 14我是好牧人,我认识我的羊,我的羊也认识我, 15正如父认识我,我也认识父,并且我为羊舍命。 16我还有别的羊不在这羊圈里,我必须领他们回来,他们也必听我的声音。这样,我所有的羊将要合成一群,由一个牧人来带领。 17父爱我,因为我舍弃自己的生命,为了再得回生命。 18没有人能夺走我的生命,我是甘心舍弃的。我有权舍弃,也有权得回,这是我从父那里得到的命令。”

19犹太人因这番话又起了纷争。 20他们当中好些人说:“祂被鬼附身了!祂疯了!何必听祂的?”

21又有些人说:“被鬼附身的人不会说这种话的,鬼能医好瞎眼的人吗?”

被犹太人弃绝

22耶路撒冷庆祝修殿节的时候到了,是在冬天。 23当耶稣走过圣殿的所罗门廊时, 24一群犹太人围着祂说:“你让我们困惑、猜疑要到什么时候呢?如果你是基督,就清楚地告诉我们吧!”

25耶稣回答说:“我已经告诉你们了,你们却不信。我奉我父的名所行的神迹也为我做见证, 26只是你们不肯相信,因为你们不是我的羊。 27我的羊听我的声音,我也认识他们,他们也跟随我。 28我要赐他们永生,他们永不灭亡。没有人能从我的手里把他们抢走。 29我父把羊赐给我,祂比万物都大,没有人能从祂手中把羊抢走。 30我和父本为一。”

31于是犹太人又拿起石头要打祂。 32耶稣就问他们:“我将许多从父而来的美善之事显给你们看,你们为了哪一件事拿石头打我呢?”

33犹太人回答说:“我们不是因为你做的善事打你,而是因为你说了亵渎的话,你是人,却把自己当作上帝。”

34耶稣说:“你们的律法书上不是写着‘我曾说你们都是神’吗? 35圣经上的话是不能废的,既然上帝称那些承受祂道的人为神, 36那么我是父分别出来又差到世上来的,我说自己是上帝的儿子,难道是亵渎吗? 37如果我不做我父的事,你们不必信我。 38但如果我做了,你们纵然不信我,也应该相信我所做的事,这样你们就会知道、领悟父在我里面,我也在父里面。”

39他们又要抓耶稣,但祂从他们手中逃脱了。

40后来,耶稣到了约旦河东岸约翰从前施洗的地方,在那里住下来。 41许多人来到祂那里。他们说:“虽然约翰没有行过神迹,可是约翰所说关于这人的事全是真的。” 42在那里许多人信了耶稣。