Yobu 8 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 8:1-22

Birudaadi Ayogera

1Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti,

28:2 Yob 6:26“Onookoma ddi okwogera ebintu bino?

Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi?

38:3 a Ma 32:4; 2By 19:7; Bar 3:5 b Lub 18:25Katonda akyusakyusa mu nsala ye?

Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima?

48:4 Yob 1:19Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama,

n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe.

58:5 Yob 11:13Kyokka bw’onoonoonya Katonda,

ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,

68:6 a Zab 7:6 b Yob 5:24bw’onooba omulongoofu era ow’amazima,

ddala ddala anaakuddiramu

n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.

78:7 Yob 42:12Wadde ng’entandikwa yo yali ntono,

embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala.

88:8 Ma 4:32; 32:7; Yob 15:18Buuza ku mirembe egy’edda,

era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga;

98:9 a Lub 47:9 b 1By 29:15; Yob 7:6kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi,

era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize.

10Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe

oba by’okutegeera kwabwe?

11Ebitoogo biyinza okumera

awatali bitosi?

128:12 Zab 129:6; Yer 17:6Biba bikyakula nga tebinnasalibwa,

bikala mangu okusinga omuddo.

138:13 a Zab 9:17 b Yob 11:20; 13:16; 15:34; Nge 10:28Bw’etyo enkomerero bw’ebeera ey’abo bonna abeerabira Katonda,

essuubi ly’abatatya Katonda bwe libula.

148:14 Is 59:5Ebyo bye yeesiga byatika mangu,

ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi!

158:15 a Yob 27:18 b Zab 49:11Yeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka

azeekwatako nnyo naye ne zitanywera.

168:16 a Zab 80:11 b Zab 37:35; Yer 11:16Ali ng’ekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana,

nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro;

17emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu y’amayinja,

nga ginoonya ekifo mu mayinja.

188:18 Yob 7:8; Zab 37:36Naye bwe bakiggya mu kifo kyakyo,

ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako.

198:19 a Yob 20:5 b Mub 1:4Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo,

ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka.

208:20 a Yob 1:1 b Yob 21:30Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango,

era tanyweza mukono gw’abakola ebibi.

218:21 a Yob 5:22 b Zab 126:2; 132:16Ajja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko,

n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu.

228:22 a Zab 35:26; 109:29; 132:18 b Yob 18:6, 14, 21Abalabe bo balijjula obuswavu,

era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.”