Yobu 42 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Yobu 42:1-17

Yobu Yeenenya nga Yeeyiyeeko Enfuufu ne Vvu

1Awo Yobu n’addamu Mukama nti,

242:2 a Lub 18:14; Mat 19:26 b 2By 20:6“Mmanyi ng’oyinza okukola ebintu byonna,

era tewali kyotegeka kyonna kiyinza kuziyizibwa.

342:3 a Yob 38:2 b Zab 40:5; 131:1; 139:6Wabuuza nti, ‘Ani ono aziyiza okuteesa kwange atalina magezi?’

Mazima ddala nayogera ebintu bye sitegeera,

ebintu ebyassukirira okutegeera kwange.

442:4 Yob 38:3; 40:7“Wulira nkwegayiridde,

nange mbeeko kye nkubuuza,

onziremu.

542:5 a Yob 26:14; Bar 10:17 b Bal 13:22; Is 6:5; Bef 1:17-18Amatu gange gaali gaakuwulirako dda,

naye kaakano amaaso gange gakulabye.

642:6 a Yob 40:4 b Ezr 9:6Kyenvudde neenyooma

era neenenyezza mu nfuufu ne mu vvu.”

742:7 Yob 32:3Nga Mukama amaze okwogera ebigambo bino eri Yobu, n’agamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkunyiigidde ggwe ne mikwano gyo ababiri; kubanga temwanjogerako bituufu, ng’omuddu wange Yobu bw’akoze. 842:8 a Kbl 23:1, 29 b Yob 1:5 c Lub 20:17; Yak 5:15-16; 1Yk 5:16 d Yob 22:30Noolwekyo kaakano mutwale ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, mweweereyo eyo ekiweebwayo ekyokebwa, n’omuddu wange Yobu ajja kubasabira, kubanga nzija kukkiriza okusaba kwe nneme okubakolako ng’obusirusiru bwammwe bwe buli. Kubanga temwanjogerako bituufu ng’omuddu wange bw’akoze.” 9Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Awo Mukama n’akkiriza okusaba kwa Yobu.

1042:10 a Ma 30:3; Zab 14:7 b Yob 1:3; Zab 85:1-3; 126:5-6Awo Mukama n’aggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama n’awa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka. 1142:11 Yob 19:13Awo baganda be bonna ne bannyina bonna ne bajja n’abo abaali bamumanyi okusooka, ne balya naye emmere mu nnyumba ye; ne bamusaasira ne bamukulisa okubonaabona kwonna Mukama kwe yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo n’amuwaayo ffeeza nga bwe yasobola, n’empeta ya zaabu.

12Awo Mukama n’awa Yobu omukisa mu nnaku ze ezaasembayo n’okusinga entandikwa ye bwe yali: yafuna endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, n’eŋŋamira kakaaga, ne ziseddume z’ente lukumi, n’endogoyi enkazi lukumi. 13Era Mukama n’amuwa n’abaana aboobulenzi musanvu, n’aboobuwala basatu. 14Omuwala ow’olubereberye n’amutuuma Yemima, n’owokubiri n’amutuuma Keeziya, n’owookusatu n’amutuuma Keremukappuki, n’aboobulezi musanvu. 15Awo mu nsi yonna ne wataba bakazi balungi kwenkana bawala ba Yobu. Kitaabwe n’abawa omugabo ogw’ebintu ogwenkanankana ne gwe yawa bannyinaabwe abalenzi.

16Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’awangaala emyaka kikumi mu ana; n’alaba ku baana be ne ku bazzukulu be okutuuka ku bannakasatwe. 1742:17 Lub 15:15; 25:8N’oluvannyuma n’afa ng’akaddiyidde ddala ng’awezezza emyaka mingi.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約伯記 42:1-17

1約伯回答耶和華說:

2「我知道你無所不能,

你的旨意無不成就。

3你問,『誰用無知的話使我的旨意晦暗不明?』

誠然,我對自己所談論的事一無所知,

這些事太奇妙,我無法明白。

4你說,『你且聽著,我要發言。

我來提問,你來回答。』

5我從前風聞有你,

現在親眼看見你。

6因此我厭惡自己,

在塵土和爐灰中懺悔。」

結語

7耶和華對約伯說完這些話後,就對提幔以利法說:「你和你的兩個朋友令我憤怒,因為你們對我的議論不如我僕人約伯說的有理。 8現在你們要取七頭公牛和七隻公羊,到我僕人約伯那裡,為自己獻上燔祭,因為你們對我的議論不如我僕人約伯說的有理。我僕人約伯會為你們禱告,我會悅納他的禱告,不按你們的愚妄懲罰你們。」 9於是,提幔以利法書亞比勒達拿瑪瑣法遵命而行,耶和華悅納了約伯的禱告。

10約伯為朋友們禱告後,耶和華恢復了他以前的昌盛,並且耶和華賜給他的比以前多一倍。 11約伯的兄弟姊妹和從前的朋友都來探望他,在他家裡一同吃飯,為他遭受耶和華所降的種種災難而安撫、慰問他。他們每人送他一塊銀子和一個金環。

12耶和華賜給約伯晚年的福分比起初更多:他有一萬四千隻羊、六千隻駱駝、一千對牛和一千頭母驢。 13他還有七個兒子和三個女兒。 14他給長女取名叫耶米瑪、次女叫基洗亞、三女叫基連·哈樸15那地方找不到像約伯三個女兒那樣美麗的女子。約伯讓她們與弟兄一同承受產業。 16此後,約伯又活了一百四十年,得見四代子孫。 17約伯年紀老邁,壽終正寢。