140:1 Yob 10:2; 13:3; 23:4; 31:35; 33:13Awo Mukama n’agamba Yobu nti,
2“Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna?
Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.”
3Awo Yobu n’addamu Mukama nti,
440:4 a Yob 42:6 b Yob 29:9“Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu?
Emimwa kangibikkeko n’engalo.
540:5 a Yob 9:3 b Yob 9:15Njogedde omulundi gumu, so siddemu;
weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.”
640:6 Yob 38:1Awo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti,
740:7 Yob 38:3; 42:4“Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja.
Ka nkubuuze,
naawe onziremu.
840:8 Yob 27:2; Bar 3:3“Onojjulula ensala yange ey’emisango;
ononsingisa omusango ggwe atuukiridde?
940:9 a 2By 32:8 b Yob 37:5; Zab 29:3-4Olina omukono ng’ogwa Katonda,
eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye?
1040:10 Zab 93:1; 104:1Kale nno yambala ekitiibwa n’obukulu
weesibe ekitiibwa n’okusukkuluma osukkulume.
1140:11 a Is 42:25; Nak 1:6 b Is 2:11, 12, 17; Dan 4:37Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo
otunuulire buli wa malala omusse wansi.
1240:12 a 1Sa 2:7 b Is 13:11; 63:2-3, 6Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye
era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.
13Bonna baziikire wamu mu nfuufu,
emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana.
1440:14 Zab 20:6; 60:5; 108:6Nange kennyini ndyoke nzikirize,
ng’omukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.”
Amaanyi g’envubu
15“Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu
kye natonda nga ggwe,
erya omuddo ng’ente,
16nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo
amaanyi mangi mu binywa by’olubuto lwakyo.
17Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule
Ebinywa by’ebisambi byakyo byakwatagana nnyo.
18Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo;
amagulu n’emikono ng’emitayimbwa.
1940:19 Yob 41:33Kibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka,
ate nga Katonda eyakitonda asobola okukisemberera n’ekitala kye.
2040:20 a Zab 104:14 b Zab 104:26Weewaawo ensozi zikireetera emmere,
eyo ku nsozi, ensolo ez’omu nsiko zonna gye zizannyira.
21Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka,
ne kyekweka mu bitoogo ne mu bitosi.
2240:22 Is 44:4Ebisiikirize by’emiti bikibikkako,
emiti egiri ku mabbali g’omugga ne gikibikkako.
23Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga;
kiba kinywevu, Yoludaani ne bwajjula n’abooga.
2440:24 Yob 41:2, 7, 26Eriyo omuntu yenna ayinza okukikwata,
oba okuyuza ennyindo yaakyo n’akasaale?”