Yobu 39 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 39:1-30

139:1 Ma 14:5“Omanyi ebiro embuzi z’oku nsozi mwe zizaalira?

Oba oyinza okumanya empeewo we ziwakira?

2Oyinza okubala emyezi gye zimala zizaale?

Omanyi obudde mwe zizaalira?

3Zikutama ne zizaala abaana baazo,

ne ziwona obulumi bw’okuzaala.

4Abaana baazo bakula ne bagejjera ku ttale,

batambula ne bagenda obutadda.

539:5 Yob 6:5; 11:12; 24:5“Ani eyaleka entulege okwetambulira mu ddembe lyayo?

Ani eyasumulula emiguwa gyayo,

639:6 a Yob 24:5; Zab 107:34; Yer 2:24 b Kos 8:9gye nawa ensi ey’omuddo okuba amaka gaayo,

n’ensi ey’omunnyo okubeerangamu?

739:7 Yob 3:18Esekerera oluyoogaano lw’ekibuga,

tewuliriza kulekaana kw’abavuzi ba bidduka.

8Ebuna ensozi, ly’eddundiro lyayo,

ng’enoonya ekintu kyonna ekibisi.

939:9 Kbl 23:22; Ma 33:17“Embogo eyinza okukkiriza okuba omuweereza wo,

n’esula ekiro mu kisibo kyo?

10Oyinza okugisiba ku muguwa n’ogirimisa olubimbi?

Eyinza okukuvaako emabega ng’erima mu kiwonvu.

11Oyinza okugyesiga olw’amaanyi gaayo amangi?

Oyinza okugirekera emirimu gyo egy’amaanyi?

12Oyinza okugyesiga okukuleetera emmere yo ey’empeke,

oba okukuleetera eŋŋaano mu gguuliro lyo?

13“Ebiwaawaatiro bya maaya bisanyusa nga byewujja,

naye ebiwaawaatiro n’ebyoya bya kalooli tebiraga kisa.

14Kubanga emaaya ebiika amagi gaayo ku ttaka,

n’egaleka ne gabugumira mu musenyu,

15ne yeerabira nti, ekigere kisobola okugaasa,

era nga ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnya.

1639:16 Kgb 4:3Obwana bwayo ebuyisa bubi ng’obutali bwayo

gy’obeera nti, yazaalira bwereere.

1739:17 Yob 35:11Kubanga Katonda teyagiwa magezi

wadde okutegeera.

18Ate bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke

esoomooza embalaasi n’omugoba waayo.

19“Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi,

oba ggwe oyambaza ensingo yaayo obwoya obwewumba?

2039:20 a Yo 2:4-5 b Yer 8:16Ggwe ogisobozesa okubuuka ng’enzige

n’ekanga n’okukaaba kwayo okw’entiisa?

2139:21 Yer 8:6Etakula ettaka mu kiwonvu, nga yeeyagala olw’amaanyi gaayo,

n’eryoka efuluma okusisinkana abalwanyi abakutte ebyokulwanyisa.

22Esekerera okutya, n’eteba na kigitiisa.

Ekitala tekigitiisa kugizza mabega.

23Omufuko ogujjudde obusaale gwesuukundira ku lubuto lwayo,

awamu n’effumu erimasamasa, n’akasaale.

2439:24 Yer 4:5, 19; Ez 7:14; Am 3:6Mu busungu obungi emira ettaka,

tesobola kusigala mu kifo kimu ng’ekkondeere livuze.

2539:25 a Yos 6:5 b Am 1:14; 2:2Ekkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’

N’ewunyiriza olutalo olukyali ewala,

n’ewulira n’okuleekaana kwa baduumizi b’amaggye.

26“Amagezi go ge gabuusa kamunye,

n’ayanjuluza ebiwaawaatiro bye e bukiikaddyo?

2739:27 Yer 49:16; Ob 4Ggwe olagira empungu okubuukira ewala mu bbanga,

era n’ezimba n’ekisu kyayo waggulu ennyo?

28Ku lwazi kw’ezimba amaka gaayo ekiro n’esula okwo,

ku lwazi olunywevu olutabetentebwa.

2939:29 Yob 9:26Eyo gy’ekettera omuyiggo gw’eneerya,

eriiso lyayo ligulengerera wala.

3039:30 Mat 24:28; Luk 17:37Obwana bwayo bunywa omusaayi,

era awali emirambo w’ebeera.”