Yobu 38 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 38:1-41

Mukama Ayogera

138:1 Yob 40:6Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,

238:2 Yob 35:16; 42:3; 1Ti 1:7“Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange,

n’ebigambo ebitaliimu magezi?

338:3 Yob 40:7Yambala ebyambalo byo ng’omusajja,

mbeeko bye nkubuuza

naawe onziremu.

438:4 Zab 104:5; Nge 8:29“Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi?

Mbuulira bw’oba otegeera.

538:5 Nge 8:29; Is 40:12Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi!

Oba ani eyagipima n’olukoba?

638:6 Yob 26:7Entobo zaayo zaateekebwa ku ki?

7Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba,

era n’abaana ba Katonda bonna nga baleekaana olw’essanyu,

838:8 a Yer 5:22 b Lub 1:9-10ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,

bwe yava mu lubuto lwayo?

9“Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,

ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,

1038:10 a Zab 33:7; 104:9 b Yob 26:10bwe n’abiteekerawo we bikoma

ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi,

1138:11 Zab 89:9bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo,

era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma?

12“Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi,

oba emmambya okugiraga ekifo kyayo,

1338:13 Zab 104:35eryoke ekwate ensi w’ekoma

eginyeenye esuule eri ababi bagiveeko bagwe eri?

14Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero,

ebyafaayo ebyo ne byefaananyiriza olugoye.

1538:15 a Yob 18:5 b Zab 10:15Abakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe,

n’omukono gwabwe gwe bayimusa gumenyebwa.

1638:16 Zab 77:19“Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka,

oba n’olaga mu buziba bw’ennyanja?

1738:17 Zab 9:13Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe?

Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa?

1838:18 Yob 28:24Wali otegedde obugazi bw’ensi?

Byogere, oba bino byonna obimanyi.

19“Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa?

N’ekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa?

2038:20 Yob 26:10Ddala, osobola okubitwala gye bibeera?

Omanyi ekkubo erigenda gye bisula?

2138:21 Yob 15:7Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi,

kubanga wali wazaalibwa dda!

2238:22 Yob 37:6“Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa,

oba wali olabye omuzira gye guterekebwa?

2338:23 a Is 30:30; Ez 13:11 b Kuv 9:18; Yos 10:11; Kub 16:21Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana,

bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana?

24Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira,

oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi?

2538:25 Yob 28:26Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita,

oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita?

2638:26 Yob 36:27Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera,

eddungu omutali muntu yenna,

2738:27 Zab 104:14; 107:35n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika,

n’okulimezaako omuddo?

2838:28 Zab 147:8; Yer 14:22Enkuba erina kitaawe waayo?

Ani azaala amatondo ag’omusulo?

2938:29 Zab 147:16-17Omuzira guva mu lubuto lw’ani?

Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu,

3038:30 Yob 37:10amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja,

ne kungulu kw’obuziba ne kukwata?

3138:31 Yob 9:9; Am 5:8“Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga,

oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye?

32Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse,

oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo?

3338:33 Zab 148:6; Yer 31:36Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu?

Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi?

3438:34 Yob 22:11; 36:27-28“Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire,

olyoke obiggyemu amataba gakubikke?

3538:35 Yob 36:32; 37:3Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke?

Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’?

3638:36 a Yob 9:4 b Yob 32:8; Zab 51:6; Mub 2:26Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu,

oba eyateeka okutegeera mu mmeeme?

37Ani alina amagezi agabala ebire?

Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu,

38enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu,

era amafunfugu ne geegattira ddala?

3938:39 Zab 104:21“Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira ky’eneerya,

oba okuliisa empologoma n’ozimalako enjala,

4038:40 Yob 37:8bwe zeezinga mu mpuku zaazo,

oba bwe zigalamira nga ziteeze mu bisaka?

4138:41 a Luk 12:24 b Zab 147:9; Mat 6:26Ani awa namuŋŋoona emmere,

abaana baayo bwe bakaabirira Katonda,

nga batambulatambula nga babuliddwa emmere?”