Yobu 36 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Yobu 36:1-33

1Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

2“Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage,

nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.

336:3 Yob 8:3; 37:23Amagezi ge nnina gava wala,

era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.

436:4 a Yob 33:3 b Yob 37:5, 16, 23Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu,

oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.

536:5 a Zab 22:24 b Yob 12:13“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu;

w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.

636:6 a Yob 8:22 b Yob 5:15Talamya bakozi ba bibi,

era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.

736:7 a Zab 33:18 b Zab 113:8Taggya maaso ge ku batuukirivu,

abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka

n’abagulumiza emirembe n’emirembe.

836:8 Zab 107:10, 14Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere

nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa

936:9 Yob 15:25n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe,

nti, beewaggudde,

1036:10 a Yob 33:16 b 2Bk 17:13aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa

n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.

1136:11 Is 1:19Bwe bamugondera ne bamuweereza,

ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima,

era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.

1236:12 a Yob 15:22 b Yob 4:21Naye bwe batamugondera,

baalizikirizibwa n’ekitala,

bafe nga tebalina magezi.

1336:13 Bar 2:5“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi.

Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.

1436:14 Ma 23:17Bafiira mu buvubuka bwabwe

era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.

15Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe,

n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.

1636:16 a Kos 2:14 b Zab 23:5“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona,

akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa,

omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.

1736:17 Yob 22:11Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira;

okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.

1836:18 Yob 34:33Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa;

obunene bw’enguzi buleme okukukyamya.

19Obugagga bwo

oba okufuba kwo kwonna

binaakuyamba okukuggya mu buyinike?

2036:20 Yob 34:20, 25Teweegomba budde bwa kiro

olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.

2136:21 a Zab 66:18 b Beb 11:25Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu,

by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.

2236:22 Is 40:13; 1Ko 2:16“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge;

ani ayigiriza nga ye?

2336:23 a Yob 34:13 b Yob 8:3Ani eyali amukubidde amakubo,

oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’

2436:24 a Zab 92:5; 138:5 b Zab 59:16; Kub 15:3Jjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye,

abantu gye bayimba mu nnyimba.

25Abantu bonna baagiraba,

omuntu agirengerera wala.

2636:26 a 1Ko 13:12 b Yob 10:5; Zab 90:2; 102:24; Beb 1:12Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe;

obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka.

2736:27 Yob 38:28; Zab 147:8“Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi,

agafuuka enkuba etonnya mu bugga;

2836:28 Yob 5:10ebire bivaamu amazzi gaabyo,

enkuba n’ekuba abantu.

2936:29 Yob 26:14; 37:16Ani ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire,

okubwatuka okuva ku kituuti kye?

30Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu,

era n’abikka obuziba bw’ennyanja.

3136:31 a Yob 37:13 b Zab 136:25; Bik 14:17Eyo y’engeri gy’afugamu amawanga,

n’agawa emmere mu bungi.

3236:32 Yob 37:12, 15Emikono gye agijjuza eraddu,

n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu.

33Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja,

n’ente ne zirangirira okujja kwayo.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約伯記 36:1-33

1以利戶又說:

2「再給我片刻,容我講明,

我還有話替上帝說。

3我要旁徵博引,

證明我的創造主公義。

4我的話絕非虛言,

知識全備者在你身旁。

5「上帝有大能,但不藐視人,

祂無所不知。

6祂不容惡人活命,

祂為窮苦人伸冤。

7祂時時看顧義人,

使他們與君王同坐寶座,

永遠受尊崇。

8他們若被鎖鏈捆綁,

被苦難的繩索纏住,

9祂就會指明他們的所作所為,

讓他們知道自己狂妄的罪愆。

10祂開啟他們的耳朵,使之受教,

督促他們離開罪惡。

11他們若聽從、事奉祂,

就可一生幸福,安享天年。

12否則,他們必死於刀下,

在無知中滅亡。

13不信上帝的人心存憤怒,

被上帝捆綁也不求救。

14他們盛年喪命,

與廟中的男妓一同夭亡。

15上帝藉苦難拯救受苦的人,

藉患難開通他們的耳朵。

16祂也要引領你脫離困境,

進入廣闊自由之地,

使你享受滿桌佳餚。

17「但惡人應受的審判落在你身上,

你難逃審判和懲罰。

18當心,不可因憤怒而嘲罵,

不可因贖金大就偏離正道。

19難道你呼求、使出渾身力氣,

就能脫離困境嗎?

20不要渴望黑夜來臨——

就是眾民被毀滅的時候。

21當心,不可轉向罪惡,

因你喜歡罪惡勝於苦難。

22看啊,上帝的能力無以倫比。

誰能像祂那樣賜人教誨?

23誰能為祂指定道路?

誰能說祂行事不義?

24人們都歌唱祂的作為,

你也要記得頌揚。

25祂的作為,萬民都已看見,

世人從遠處目睹。

26我們無法明白上帝的偉大,

祂的年歲無法數算。

27祂吸取水滴,

使之在雲霧中化為雨,

28從雲端沛然降下,

滋潤人間。

29誰能明白雲層的鋪展,

及祂幔幕發出的雷聲?

30祂在四圍鋪展閃電,

照亮大海的深處。

31祂藉此治理萬民,

賜下豐富的食物。

32祂手握閃電,

令它射向目標。

33雷聲顯明祂的作為,

就連牲畜也能察覺。