Yobu 34 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 34:1-37

1Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

2“Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi;

mumpulirize mmwe abayivu.

334:3 Yob 12:11Kubanga okutu kugezesa ebigambo

ng’olulimi bwe lugezesa emmere.

434:4 1Bs 5:21Leka twesalirewo ekituufu;

muleke tulondewo ekisaanidde.

534:5 a Yob 33:9 b Yob 27:2“Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango,

naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima.

634:6 Yob 6:4Wadde nga ndi mutuufu,

ntwalibwa okuba omulimba,

wadde nga siriiko musango,

akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’

734:7 Yob 15:16Musajja ki ali nga Yobu,

anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi?

834:8 Yob 22:15; Zab 50:18Atambula n’abakozi b’ebibi,

mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu.

934:9 Yob 21:15; 35:3Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa

bw’agezaako okusanyusa Katonda.’

1034:10 a Lub 18:25 b Ma 32:4; Yob 8:3; Bar 9:14Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera.

Kikafuuwe Katonda okukola ebibi,

wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.

1134:11 a Zab 62:12; Mat 16:27; Bar 2:6; 2Ko 5:10 b Yer 32:19; Ez 33:20Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze;

n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze.

1234:12 Yob 8:3Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya.

Ayinzabyonna tasaliriza musango.

1334:13 Yob 38:4, 6Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi?

Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?

1434:14 Zab 104:29Singa asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu

awamu n’omukka gwe,

1534:15 Lub 3:19; Yob 9:22abantu bonna bandizikiriridde wamu,

era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.

16“Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino;

wuliriza kye ŋŋamba.

1734:17 a 2Sa 23:3-4 b Yob 40:8Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga?

Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango?

1834:18 Kuv 22:28Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’

n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’

1934:19 a Ma 10:17; Bik 10:34 b Lv 19:15 c Yob 10:3atattira balangira ku liiso

era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu,

kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?

2034:20 a Kuv 12:29 b Yob 12:19Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi.

Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo.

Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu.

2134:21 Yob 31:4; Nge 15:3“Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu;

atunuulira buli kigere kye batambula.

2234:22 a Am 9:2-3 b Zab 139:12Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi,

ababi gye bayinza okwekweka.

2334:23 Yob 11:11Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu

okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango.

2434:24 a Yob 12:19 b Dan 2:21Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi

n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe.

25Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe,

abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.

26Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi

abantu bonna nga balaba,

2734:27 a Zab 28:5; Is 5:12 b 1Sa 15:11kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera

ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna.

2834:28 Kuv 22:23; Yob 35:9; Yak 5:4Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako

era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa.

29Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya?

Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba?

Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu;

3034:30 Nge 29:2-12aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga,

aleme okutega abantu emitego.

31“Singa omuntu agamba Katonda nti,

gunsinze, sikyaddayo kwonoona,

3234:32 a Yob 35:11; Zab 25:4 b Yob 33:27kye sitegeera kinjigirize,

bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,

3334:33 Yob 41:11olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala,

akuleke ng’ogaanye okwenenya?

Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze;

noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi.

34“Abantu abalina okutegeera mumbuulire,

abasajja abagezi abawulira muntegeeze,

3534:35 Yob 35:16; 38:2‘Yobu ayogeza butamanya

ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’

3634:36 Yob 22:15Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero,

olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi!

3734:37 a Yob 27:23 b Yob 23:2Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu,

n’akuba mu ngalo wakati mu ffe,

n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.”