Yobu 31 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 31:1-40

Obutukuvu bwa Yobu

131:1 Mat 5:28“Nakola endagaano n’amaaso gange;

obutatunuulira muwala n’amaaso ag’obukaba.

231:2 Yob 20:29Kiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu,

omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu?

331:3 a Yob 21:30 b Yob 34:22Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu,

n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu?

431:4 a 2By 16:9 b Nge 5:21Amakubo gange gonna tagalaba,

era tamanyi ntambula yange?

531:5 Mi 2:11Obanga natambulira mu bulimba

era nga n’ekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa;

631:6 Yob 6:2; 27:5-6leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda

amanye obutuukirivu bwange.

731:7 a Yob 23:11 b Yob 9:30Obanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo,

n’omutima gwange ne gugoberera amaaso gange,

engalo zange ne zibaako ebbala lyonna;

831:8 a Lv 26:16; Yob 20:18 b Mi 6:15kale nsige, omulala abirye,

weewaawo ebirime byange bikuulibwe.

931:9 Yob 24:15Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi,

oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa,

1031:10 Ma 28:30; Yer 8:10kale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala,

n’abasajja abalala beebake naye.

1131:11 Lub 38:24; Lv 20:10; Ma 22:22-24Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve,

ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa.

1231:12 a Yob 15:30 b Yob 26:6 c Yob 20:28Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira,

ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.”

Abaddu n’Abaavu Okubassaako Omwoyo

1331:13 Ma 24:14-15“Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi,

bwe banninaako ensonga,

14kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu?

Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki?

1531:15 Yob 10:3Eyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda?

Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe?

1631:16 a Yob 5:16; 20:19 b Yob 22:9“Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna,

era obanga nakaabya nnamwandu;

1731:17 Yob 22:7; 29:12obanga nnali ndidde akamere kange nzekka

atalina kitaawe n’atalyako,

18kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe,

era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu.

1931:19 a Yob 22:6 b Yob 24:4Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo,

oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka;

20mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima,

olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange;

2131:21 Yob 22:9obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe,

kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza,

2231:22 Yob 38:15kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange,

leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira.

2331:23 Yob 13:11Olw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe,

nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo.

2431:24 a Yob 22:25 b Mat 6:24; Mak 10:24“Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu

oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’

2531:25 Zab 62:10obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi,

oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi;

2631:26 Ez 8:16obanga nnali ntunuulidde enjuba,

oba omwezi nga byaka mu kitiibwa,

27omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama,

ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa,

2831:28 Ma 17:2-7era n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango

olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.”

Abalabe n’abagwira Okubassaako Omwoyo

2931:29 a Ob 12 b Nge 17:5; 24:17-18“Obanga nasanyuka ng’omulabe wange afunye emitawaana

oba ne njaguza olw’ebizibu ebyamutuukako,

30sakkiriza kamwa kange kwonoona

nga nkolimira obulamu bwe.

3131:31 Yob 22:7Abantu b’omu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti,

‘Ani atakkuse nnyama?’

3231:32 Lub 19:2-3; Bar 12:13Tewali mutambuze yasula ku kkubo,

kubanga oluggi lwange lwali luggule eri buli muyise.

3331:33 a Nge 28:13 b Lub 3:8Obanga nakweka ekibi kyange ng’abantu bwe bakola,

nga nkweka obutali butuukirivu bwange mu mutima gwange,

3431:34 Kuv 23:2olw’okutya ekibiina,

nga ntya okuswala mu kika,

ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru,

3531:35 a Yob 19:7; 30:28 b Yob 27:7; 35:14so nga waliwo ayinza okumpulira,

leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu;

n’oyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike.

36“Ddala ddala nandibyambadde ku kibegabega kyange,

nandibyambadde ku mutwe ng’engule.

3731:37 Yob 1:3; 29:25Nandimunnyonnyodde buli kifo we nalinnya ekigere,

nandimusemberedde ng’omulangira.

3831:38 Lub 4:10“Singa ettaka lyange linkaabirira,

n’ebinnya byalyo bye nsimye ne bitotobala n’amaziga;

3931:39 a 1Bk 21:19 b Lv 19:13; Yak 5:4obanga ndiddemu ebibala awatali kusasula,

era ne ndeetera bannannyini lyo okufa,

4031:40 Lub 3:18leka omwennyango gumere mu kifo ky’eŋŋaano,

n’omuddo oguwunya gumere mu kifo kya sayiri.”

Ebigambo bya Yobu byakoma wano.