Yobu 24 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 24:1-25

124:1 a Yer 46:10 b Bik 1:7“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera?

Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?

224:2 Ma 19:14; 27:17; Nge 23:10Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo,

ne balunda ebisolo bye babbye.

324:3 Ma 24:6, 10, 12, 17; Yob 22:6Batwala endogoyi ya mulekwa

ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo.

424:4 a Yob 29:12; 30:25; Zab 41:1 b Nge 28:28Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo,

ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.

524:5 Zab 104:23Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa,

n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere;

mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.

6Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye,

ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.

724:7 Kuv 22:27; Yob 22:6Olw’okubulwa engoye, basula bwereere;

tebalina kye beebikka mu mpewo.

824:8 Kgb 4:5Enkuba y’oku nsozi ebatobya,

ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.

924:9 Ma 24:17Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;

omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.

10Olw’okubulwa engoye bayita bwereere;

betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.

11Basogolera emizabbibu ku mayinja,

ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.

1224:12 a Ez 26:15 b Yob 9:23Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga,

n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi.

Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.

1324:13 a Yk 3:19-20 b Is 5:20“Waliwo abo abajeemera omusana,

abatamanyi makubo ge,

abatasigala mu kwaka kwagwo.

1424:14 Zab 10:9Omutemu agolokoka nga obudde buzibye

n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga;

ekiro abbira ddala.

1524:15 a Nge 7:8-9 b Zab 10:11Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe,

ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’

n’abikka ne ku maaso ge.

1624:16 a Kuv 22:2; Mat 6:19 b Yk 3:20Mu kizikiza mwe basimira amayumba,

kyokka emisana baba beggalidde.

Tebaagala kitangaala.

17Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya.

Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.

1824:18 a Yob 9:26 b Yob 22:16Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi,

era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi.

Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.

1924:19 a Yob 6:17 b Yob 21:13Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira,

aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.

2024:20 a Yob 18:17; Nge 10:7 b Zab 31:12; Dan 4:14Olubuto lunaamwerabiranga;

envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa.

Tajjukirwenga nate,

omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.

2124:21 Yob 22:9Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala.

Tebakolera nnamwandu bya kisa.

2224:22 Ma 28:66Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe.

Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.

2324:23 a Yob 12:6 b Yob 11:11Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe

n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.

2424:24 a Yob 14:21; Zab 37:10 b Is 17:5Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo.

Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna.

Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.

2524:25 Yob 6:28; 27:4“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba,

n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”